21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
Uncategorized

Ebya Lwandasa bibi, bamugoba ku kkanisa ya Lebanon

Ebyo Rwandasa bibi, bamugoba ku kkanisa ya Lebanon.* Poliisi ne RDC bakyamuyiriddewo omubiri

 Abalokole abasabira mu kkanisa ya Mt.Lebanon Church e mukono bali mu kutya, Oluvannyuma lwa kooti enkulu ejulirwamu okusingisa omusumba we kkanisa eno Samuel Rwandasa emisango egyenjawulo omuli okukyuusa ekyaapa okuli ekkanisa eno, n’okukyuusa erinnya lye kkansi.

EKANISA EKAYANIRWA

Abamu kubalokole abasabira mu kkanisa eno gyebuvuddeko bekalakasa nga basaba gavumenti okubayamba okununula ekkanisa yabwe ereme kukolebwa nga ey’omu Ndeeba eyamenyebwa, wabula abawabi bategezezza nga bwe batagenda kumenya kkanisa, wabula kooti yalagira omusumba Rwandasa okuva mu kifo kino bunnambiro, ebizimbe n’ekanisa bisobole okukozesebwa abantu abatuufu.
Rwandasa yalina Okuva ku kkansisa ng’ebiseera by’ennaku enkulu omuli n’okumalako omwaka nga tebinatuuka, wabula omubaka wa Pulezidenti e mukono Fatuma Ndisaba n’omudumizi wa Poliisi ne basaba abawabi okugumikirizako ennaku zimale okuggwa.
Okusinziira ku Paul Ssemwogerere, omu kubaliwo ng’ekkanisa eno etandika era abatwala Rwandasa mu kooti yategezezza SSEKANOLYA nti,” ekkanisa eno yatandikibwa Rev.Solomon Muwanga mu mwaka gwa 1994, ng’eyitibwa The United Methodist Church era n’alonda Rwandasa ng’omusimba w’ekanisa eno.

Ono agamba nti  olutalo lw’ekkanisa ne Rwandasa lwava ku mukazi gwe yali ayagala okuwasa, ate nga nnyazaala we, ekintu ekkanisa kye yali tekiriziganya nakyo, Ekkanisa yamuyita n’emutuuza munsonga ng’eri wamu ne bazadde be (Rwandasa) omuli taata we Tebandeke Elizefani ne maama we Victo Tebandeke nga Bali wamu n’omutandisi we kkanisa eno Rev.Solomon Mugwanga, ne bamulemesa okuwasa omukyaala Oyo, kuba kyali kigenda kuswaza ekkanisa.

Ssemwogerere agamba nti, ekkanisa yamussako akalippo omwali obukwakulizo nti, bwaba asazzewo okugenda n’omukyaala, alekulire obuwerezza bw’okubeera omusumba we kanisa, oba okusigala mu buwereza aleke omukyaala, ye kwe kusalawo okulekulira n’agenda n’omukazi mu bitundu bye Ntebe era ne baleeta Julius Mugabi okusumba ekkanisa.

Mu mwaka gwa 1998, Rwandasa yadda n’asisinkana abali bakulira ekkanisa era ne yetondera ekkanisa ng’ayagala okudda okuwereza. Ekkanisa yatuula ng’ekulemberwa Rev.Solomon Muwanga ne bamukkirizza okudda ng’amaze okufuna n’okugattibwa n’omukazi omulala ekintu Rwandasa kye yakirizza, olwo n’alyooka akkirizibwa okuddamu okusumba ekkanisa eno.

 William Ndugga, Ono nga naye yali muwereza mu kkanisa eno agamba nti, “omusumba Rwandasa bwe yazzibwa mu kanisa mu mwaka gwa 2000,  yatandika okukyusakyusa ebiwandiiko omwali n’ekyaapa okuli ekkanisa n’abizza mu mannya ge n’erinnya lye kanisa n’alikyuusa,eyali The United Methodist Church  n’agituuma Mt.Lebanon Christian Center Limited era n’agiwandiisa ne mumateeka.

Ono agamba nti mu mwaka gwa 2009, baddukira mu kooti enkulu e Jinja era omusango n’egusingisa Omusumba Rwandasa nga 7/9/2016. Rwandasa teyamatira n’snsala ya musango n’ajulira mu kooti ensukkulumu mu 2017, kyokka nayo n’egumusinza nga 28/10/2020.

Mu kiwandiiko SSEKANOLYA kye yalabyeeko, abalamuzi abali musango guno balagidde ekyaapa ekiri mu mannya ga Rwandasa kisazibwemu era ne bamulagira n’okuva mu kifo ekyo mubwangu, asasule byonna ekkanisa byekoseddwa ebbanga ly’amazewo ate n’okusasula sente zonna ezisasanyiziddwa abawabi mu musango.

Gye buvuddeko SSEKANOLYA yatukiridde omusumba Samwel Rwandasa okutangaza ku nsonga  yategezezza nti,” aba United Methodist Church tabamanyi era tabakolerangako. Yagambye nti abo abasajja abamutwala mu kkoti abamwesibako bafere, nga kati batandise n’okufera ebiwandiiko bya kooti era n’ategeeza nti  omusango ogwo tegunnasalwa, era enfunda eziwera abawabi babaddenga bayitibwa mu kooti nga bebulankanya, Ono yategezezza ng’ensonga endala bwe zirina okwogerwako looya we. Kunsonga y’okwagala nnyazaala, Rwandasa yategezezza nga bwatayinza kwogera kunsonga z’amaka ge mu mawulire.

Ssentebe w’ekyalo Gunga ekkanisa eno kweri Harriet Nankya bwe twamubuzizza oba alina ky’amanyi kuntalo eziri ku kkanisa eno yategezezza nti,” entalo ezo nziwulira naye mbadde sizigoberera bulungi kuba n’akalondebwa nga sentebe w’ekyalo, ssirina kiwandiiko kyonna kye nassako omukono kubiwandiiko 

Related posts

Apple MacBook Air Vs. Microsoft Surface Laptop

vega

A Home So Uncluttered That It Almost Looks Empty

vega

How One Designer Fights Racism With Architecture

vega

Leave a Comment