Akulira ekibiina kya NUP, Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’ azzeemu okuva mu mbeera olw’babaka ba NUP abamu okuva ku mulamwa , obutagoberera biragiro n’okwefuula bakiwagizi.
Kuluno ayambalidde ababaka basatu ng’asookedde ku Betty Nambooze Bakireke {Mukono Munisipaali} nti enneeyisa ye etandise okumutabula kuba enkiiko z’ekibiina tazeetabaamu,tebamuwuliza n’emirimu gya NUP tagiwagira nga babaka banne
Ku Nambooze,Bobi Wine agasseeko ababaka Bashir Kazibwe {Kawempe South} ne Twaha Kagabo {Bukoto Central},Abed Bwanika {Kimaanya –Kabonero} nti nabo, tebagoberera mateeka gakibiina.
Bino Bobi Wine abyongeredde mu kafubo ke yayaseemu ababaka ba NUP bonna 57 bokka be baalabiseeko abasigadde 20 tebaalabiseeko.
Olukiiko lwatudde ku kitebe kya NUP ekipya e Makerere Kavule wabula ensonda mu lukiiko zaategezza nti ku babaka 20 abataabaddewo,ababaka aabawerako baawerezza obubaka obwetonda obutasobula kubaawo nga bano kwabaddeko;Patrick Nsamba Oshab{Kassanda North} ne Juliet Kakande {mukazi Masaka Ciy}.
Nambooze,Kazibwe, Kagabo, Abed Bwanika, Muwanga Kivumbi {Butambala} n’abalala kigambibwa nti tebaawerezza bubaka bwa kwetonda olw’obutabaawo mu lukiiko era kino kyeleetedde ababaka abamu okwekuba obwama olwa bannaabwe abawera abataabadde mu lukiiko wadde ng’akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga obubaka yabubaweereza mu budde.

Bobi yabuuzizza Betty Nambooze gy’ali nga talabikako nga taliiko wadde obubaka bwe yaweerezza obwekwetonda.
Eggulolimu baabadde bombi ku kisaawe ky’e Kangulumira e Kayunga ku mpaka z’akamalirizo ex’empaka za NUP Foot Soldiers Tournament;
Nambooze obutabeera mu lukiiko kyewunyisizza nnyo Bobi n’anyeenya n’omutwe mu ng’eri y’obutakikkiriza.
Ebizibu bya Nambooze byeyongedde Ssaabawandiisi w’eekibiina Lewis Rubongoya bwe yasomye amannya g’ababaka abaagaanira ddala okusasula ssente z’ekibiina eza buli mwezi.
Kwabaddeko Betty Nambooze, Bashir Kzibwe Mbaziira {Kawempe South },Twaha Kagabo {Bukoto Central}, Muhammad Ssegirinya {Kawempe North}ne Allan Ssewanyana {Makindye West}.
Ekya Ssegirinya ne Ssewanyana kiyinza okutegeerekeka kuba babadde mu kkomera ekiseera ekisinga obuwavu eky’ekisanja.
Mu Apirl wa 2021 olusirika lwa’ababaka ba NUP olwatuula ku Nile Resort Hotel e jinja baasalawo buli omu asasule emitwalo 50 ezigenda mu kibiina buli mwezii.
Ssentezino Kazibwe,Nambooze ne Kagabo ze batasasula.
Ababaka ba NRM basasula 200,000 buli mwezi aba FDC basasula 500,000 ate DP bawa 250,000-.
Ensonda zaategeezezza nti Bobi Wine yavumiridde ababaka abatayaagala kusasula ssente za kibiina ate nga ze zitambuza emirimu .
Yasabye ababaka eby’okwagala enkyukakyuka babiggye mu bigambo babiteeke mu bikolwa.
Waliwo ababaka abaayogeddwaako ng’abateetaba nu mirimu gy’ekibiina ng’okusonda ssente ku mikolo egyejawulo egibagitegekeddwa ekibiinagwonnaoguba gwetaagisizza.
Abatajjumbira abaanokoddwaayo mulimu;Kazibwe,Abed Bwanika Twaha Kagabo,Susan Mugabi {mukazi/Buvuma }ne Micheael Kakemb {Ntebe Munisipaali}.