EBY’AMABAATI g’e Karamoja byongedde okulanda; Omuwaabi wa gavumenti omukulu aweereddwa fayiro za baminisita abalala munaana (8) ab’okuvunaanibwa mu kkooti.
Irene Nakimbugwe, omumyuka w’omwogezi wa ofiisi y’omuwaabi wa Gavumenti omukulu (DPP), yategeezezza Bukedde nti eggulo ku Lwokubiri, baafunye fayiro munaana (8) okuva mu bitongole ebinoonyereza ku nsonga z’amabaati omuli akakiiko akakulira okulwanyisa enguzi okuva mu maka g’Obwapulezidenti wamu n’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango nga ziwagira baminisita abalala bakwatibwe.
Wadde yagambye nti abakugu mu ofiisi eno baatandise dda okwekenneenya obujulizi obuli mu fayro zino balabe oba bumala okuvunaana baminisita abalala, kyokka n’agaana okutubuulira amannya gaabwe.

Kyokka ensonda enneekusifu zaategeezezza Bukedde nti abamu ku baminisita abasulirira okukwatibwa kwe kuli Agnes Nandutu, omubeezi ow’ensonga za Karamoja, Amos Lugolobi (omubeezi ow’ebyensimbi), Bwino Kyakulaga – omubeezi ow’ebyobulimi, Nampala wa Gavumenti Hamson Obua ne Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija.
Bukedde era yakitegeddeko nti baminisita 15 be baakunyizibwa abanoonyereza ng’ekisigadde ye ofiisi ya DPP okukakasa obujulizi olwo nabo bagattibwe ku Minisita w’ensonga z’e Karamoja Goretti Kitutu eyakwatiddwa wiiki ewedde n’assibwako emisango ne mwannyina Micheal Nabwoya kw’ossa Jonah Agaba (omuyambi we) ne basindikibwa e Luzira gye baaliiridde Paasika.
Kitutu ne banne leero ku Lwokusatu, lwe basuubirwa okuzzibwa mu kkooti bennyonnyoleko ku nsonga y’emu oluvannyuma lw’okummibwa okuteebwa ku kakalu ka kkooti ku Lwokuna oluwedde.
Emboozi y’okubulankanya amabaati agaalina okuweebwa abantu b’e Karamoja yatandika mu February w’omwaka guno.