Oluvannyuma lwa ffamire y’omuvubi, Fred Ntambi eyattibwa ku kizinga ky’e Mbeeya ekisangibwa mu ggombolola y’e Mpunge mu disitulikiti y’e Mukono okuvaayo nga balaajana okufuna obwekanya ku kuttibwa kw’omuntu waabwe, poliisi e Mukono ekutte abantu abalala 7 nga kigambibwa nti be bamu ku beenyigira mu ttemu lino.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango akakasizza nti abantu 7 be bali mu kaduukulu kaabwe ku poliisi ya Jinja Road, n’ategeeza nga bwe bakyagenda mu maaso n’okukwata abantu abalala okutuusa nga bonna baweddeyo.
Onyango bw’abuuziddwa ddi abantu bano lwe batwalibwa mu kkooti ategeezezza nga mu kiseera kino bwe bataamanya kubanga bano omusango gwe bazze munne ogwetaagisa obudde okunoonyereza nga tekisobola kukolebwa mu lunaku lumu, bw’atyo n’asaba abaffamire okubeera abakkakkamu.

Florence Namujju, mwannyina w’omugenzi agamba nti okuva ensonga zino lwe zaatandika, okufulumizibwa mu mawulire baatandika okutiisibwatiisibwa n’okubaako abantu ab’enjawulo ababatambulirako ekintu ky’agambye nti kibatadde mu matigga.
Alaajanidde gavumenti okuvaayo okubataasa. Ono era agenze mu maaso n’asaba poliisi okulaba ng’abantu bano batwalibwa mu kkooti basobole okufuna obwenkanya.