Olukiiko oluddukanya ekittavvu ky’abakozi ekya NSSF olwókuntikko lwakutuula lusalewo ku byava mu alipoota y’akaliisoliiso wa government.
Kaliisoliiso yalagira eyali akulira ekittavvu ky’abakozi Richard Byarugaba saako Steven Mwanje eyali akulira eby’ensimbi mu kitongole kino okuliwa ensimbi ezisoba mu buwumbi bwa shs 5 zebaafiiriza ekitongole, bwe baasasula abakozi ensimbi ezitalambikiddwa mu mateeka.

Bino webigidde nga waliwo ne Alipoota egambibwa okuva ewa Minister w’ensonga z’ekikula ky’abantu Betty Amongi eragira olukiiko olufuzi olwa NSSF obutazza buggya ob Contract ya Richard Byarugaba okuddamu okukulembera ekitongole kino.
Mu lukiiko olwali lwatuula mu November 2022, abakiise baali bakkiriziganya Byarugaba okuddamu okukulembera ekitongole kino olw’ebirungi byakikoledde.
Ebirungi ebyo ne Kaliisoliiso wa government kweyasinziira obutamuvunaana nemulagira kuliwa.

Ekiwandiiko ekigambibwa okuva ewa Minister Amongi kyawandiikibwa nga 30th June,2023 nga kiragira ssentebe wólukiiko olufuzi olwa NSSF Peter Kimbowa nti Byarugaba taddamu kuweebwa buvunanyizibwa bwa Kitongole kya NSSF.
Wabula Sentebe Peter Kibowa mu kuwayaamu ne CBS Emmanduso ategezezza nti olukiiko luno, lusuubirwa okutuula mu wiiki ejja okumulungula ensonga zonna, okuviira ddala ku alipoota ya Kaliisoliso n’oluvannyuma lusalewo ekiddako.