22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Eddagala lya COVID-19 lirinze kugezesebwa ku bantu- Minisita Musenero.

MINISITA wa ssaayansi ne tekinologiya Dr. Monica Musenero ategeezezza nga bwe bamaze okukola eddagala erigema COVID 19 lya bika bisatu nga lino lirinze kugezesebwa ku bantu mu kiseera kino.

Musenero bino abitegezeezza ababaka ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensansaanya y’ensimbi mu bitongole bya gavumenti akakubirizibwa omubaka wa Busiro East, Medad Ssegona.

Ebigambo bya minisita Musenero bikontanye n’ebya Polof. Vinand Nantulya eyalabikako mu kakiiko keekamu ku Mmande bwe yategeezezza nti Uganda ekyali mu kuteekawo ebikola eddagala wabula nga tebannateekateeka kutandika kulikola.

Ababaka bawaliriziddwa okuteeka minisita ku birayiro olw’okwogera ebitakwatagana ku nsimbi akawumbi 4 n’obukadde 100 ezaayisibwa kw’ezo obuwumbi 31 ez’okukola eddagala  mu mwaka gw’ebyensimbi 2020/21, nga zino zaali zaakukola kunoonyereza ku nsonga ya kawuka kano n’okumanya ddagala ki eriteekeddwa okukanganga.

Musonero era asingisiddwa ogw’okugaba ensimbi ezaali mu pulojekiti eno ng’ aziwereza ku akawunti z’abantu ab’enjawulo ekitontana n’amateeka, ekiwaliriza omubaka wa Agago North – John Amos Okot okusaba ssentebe w’akakiiko okuteeka ono ku birayiro.

Akakiiko era kawaliriziddwa okusaba minisita okuwaayo empapula z’obuyigirize bwe oluvannyuma lw’okwongera okuzuula emivuyo ku nsimbi zino nga kiraga nti tezaakwatibwa bulungi.

Related posts

Tetujja kulekulira – NSSF.

OUR REPORTER

Ababaka ba parliament ya EALA balayizibwa.

OUR REPORTER

Aba FDC balonze agenda okubakwatira bbendera mu kalulu k’e Oyama.

OUR REPORTER

Leave a Comment