Abakulira eddwaliro lya Old Kampala bawadde nsalesale wa nnaku 7 eri lord mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago n’omugoba wa bodaboda Kabanda Muhamood okulyetondera, bwebagaana bagenda kubakuba mu mbuga z’amateeka olw’okuboonoonera erinnya.
Akulira emirimu mu ddwaliro lya Old Kampala, Dr Kazibwe Faisal, agambye nti ababiri bano baagotaanya emirimu gyabwe n’okwonoona erinnya ly’eddwaliro bwebaategeeza eggwanga, nti Kabanda yaggibwamu ensigoye bweyali agenze ku ddwaliro eryo okufuna obujanjabi oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje.
Dr.Kazibwe ategezezza nti Kabanda weyagendera mu ddwaliro eryo yali afunye ebiwundu eby’amaanyi ku kyenyi olw’akabenje keyali afunye, n’omusaayi okwetukuta mumubiri(internal bleeding), yalongoosebwa bululungi n’atereera era tewali kitundu kya munda mu mubiri gwe kyaggibwamu.
Akakiiko akavunanyizibwa ku kulondoola emirimu gy’abasawo aka Uganda Medical and Dental Practioners Council nako kaafulumya alipoota oluvannyuma lw’okukebera Kabanda, nekategeeza nti yali yazaalibwa n’ensigo emu.
Kati eddwaliro lyagala lord mayor ne Kabanda okulyetondera mu buwandiike nga bussiddwa ku miko egisooka egy’empapula z’amawulire okuli New Vision ne Daily Monitor.
Wabula ye Muhamood Kabanda nga wamyaka 25 alumiriza nti bweyaddusibwa mu ddwaliro lya Old Kampala Hospital oluvannyuma lw’okufuna akabenje, yagibwaamu ensigo ye mu ngeri etaategerekeka.
Agamba nti yagenda okudda engulu ng’alina olukindo ku lubuto ekiraga nti yalongoseebwa ku lubuto,wadde ng’obuvune yali abufunye ku mutwe.
Agamba nti oluvannyuma lw’okusiibulwa ku Old Kampala, yagendako mu malwaliro amalala okumwekebejja olukindo olwo oluvannyuma lw’okwekengera nti yandiba yagibwamu ensigo ye, nti era baagenda okumukebera ng’ensigo ye emu nga teriimu.