Alipoota eyafulumiziddwa akakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu mu ggwanga aka ‘Uganda Human Rights Commission’ ey’omwaka 2021 eraze nga eggye lya UPDF awamu ne poliisi bwebalidde empanga mukulinyirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga.
Okusinziira ku kunoonyereza okwakoleddwa akakiiko kano kwalaze nti mu mwaka 2021 bafuna emisango 354 egy’okulinyirira eddembe ly’obuntu gyali girumiriza poliisi ye ggwanga ate 135 nga bavunaana ggye lya UPDF.
“Emisango gyetufuna gyeyongedde ebitundu 13 ku buli 100 nga ku poliisi girinnye okuva ku 308 negidda ku 354 mu mwaka 2021. Okusinga emisango gino twagifuna ku kitebe kyaffe ekiri e Hoima nga bawandiika emisango 83, ate e Soroti gyali 81. Emisango egirumiriza UPDF gyasinga kuva mu kitundu kye Moroto ng’eno gyali 39 okwo nekuddako ekitundu kya Buganda ne misango 33,” Alipoota eyafulumiziddwa ku Mmande bwe yagambye.

Alipoota eno egamba nti abantu Ssekinoomu bakwata kyakusatu okulinyirira eddembe ly’obuntu olwo nekuddako ekitongole ky’ Amakomera ki Uganda Prisons Service, Uganda Wildlife Authority ne gavumenti ez’ebitundu.
Okunoonyereza kuno kulaga nti okusinga poliisi bagivunaana kulinyirira ddembe lya bantu ery’obwebange nga ku kino emisango 200 gyegyawaabwa olwo nekuddako okutulugunya abantu n’emisango 107.
Alipoota yalaze nti okusinga okwemulugunya ku UPDF kuli ku kutulugunya bantu nga wano emisango 80 gyeyawaabwa olwo nekuddako okulinyirira eddembe ly’obuntu ery’obwebange nga babakugira okubaako byebakola.
Akakiiko kannyonnyodde nti omusango ogwasinga obunene mu 2021 kwekuwa abantu ebibonerezo ebitali bya buntu mu ngeri y’okubatulugunya nekuddako okukugira abantu ku ddembe lyabwe ery’obwebange, okubabbako ebyabwe, okubamma obukuumi, okubabuzaawo awamu n’okugaana okubawuliriza awamu n’emisango.
Bweyabadde ayogera ku alipoota eno, Ssentebe w’Akakiiko kano, Mariam Wangadya yagambye nti emisango egirumiriza poliisi gyeyongera mu biseera by’akalulu kuba eggwanga lyonna lyali ku bunkenke ate mu kiseera kyekimu eggwanga lyali lirwanyisa COVID-19.
Akulira eby’obufuzi mu UPDF, Maj Gen Henry Matsiko, yawolereza basajja be nalaga nga bwebakola ennyo okulwanyisa ebikolwa ebirinyirira eddembe ly’obuntu era wadde ebimu bibasobako naye bannayuganda balina okumanya nti nabo basobya nga abantu abalala naye nga eggye elyanunula bannansi okuva mu baali babatulugunya ate terisobola kukola bikolwa byebimu eby’obukulembeze bwe bagoba.
Maj Gen Matsiko agamba nti UPDF ne Poliisi bakolagana wamu n’akakiiko kano okukendeeza ku kulinyirira eddembe ly’obuntu.
Kinajjukirwa nti ennyingo ya Ssemateeka eya 51 gyeteekawo akakiiko kano aka ‘Uganda Human Rights Commission(UHRC)’ okulondoola eddembe ly’obuntu wonna mu ggwanga.