23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
Amawulire

Ekibalo ekipya; Lwaki Pulezidenti akoze enkyukakyuka mu maggye

Enkyukakyuka ezaakoleddwa omuddumizi wa magye ow’okuntiko, Gen Y.K Museveni abakugu baategeezezza nti zakoleddwa olw’ekibalo ekipya Museveni kyayagala mu bukulembeze, eby’okwerinda n’obutebenkevu bw’eggwanga lino.Pulezidenti bwe y’abadde alayiza baminisita abapya e Kololo ne mukwogerakwe kwonna okwadiridde abazigu okwegeza mu kutta Gen Edward Katumba

MUHOOZI EYALONDEDWA OKUKULIRA AMAGYE G’OKUTAKA

Wamala, yategeezezza nti waabaddewo obuwatwawatwa bwagenda okuziba.Yayongeddeko nti n’ebyokugezaako okutemula  musajjawe Katumba teyabadde byabulijjo wabula byabddemu ebyobufuzi.Mu ttemu lino Katumba lye yasimattuse, muwalawe  ne ddereevawe tebasimattuse. Kwo okunoonyereza kukyagenda mu maaso. Kyokka abantu baffe abali mu Kintu baategeezezza nti enkyukakyuka ezakoleddwa ziteekwa okuba nga Jjajja abala basajja be enkwatangabo abalina okukasa nti obukulembeze tebutataaganyibwa, obutebenkevu ne seculite mungeri emu oba endala.Baayongeddeko nti layinapu yomukulu eyogera bingi bwogyetegereza.Bino byonna bidiridde enkyukakyuka Pulezidenti  mweyalondedde Lt. Gen Wilson Mbandi ku bwa Chief of Defence  Forces(CDF) ng’amukibwa Lt Gen Peter Elwelu,   , Lt.Gen Muhoozi Kainerugaba (Mutabani we_ Museveni )  ye mudduumizi wamagye ag’okutaka nga yamugye kifo ky’okukulembera amagye agakuuma pulezidenti (SFC) ate  Maj .Gen. Leopold Kyanda  yalondeddwa  ku kifo kya Joint chief of Staff . Brig Gen Bob Ogik yalondedwa ku ky’akulira  embeera zabajaasi b’egye  ery’okutaka ,  Brig Gen. Daniel Kakono yalondeddwa okuduumira ekibinja  lya Field Artillery , Brig Peter  Chandia eggye erikuuma  pulezidenti ,  Brig Flex Busisoori yamulonze okumyuka omuduumizi wa SFC .Lt  Gen .Charles Angina yamugye mu operation Wealthy Creation natwalibwa mu minisitule y’ensonga z’ebweru , Maj .Gen Sam Kavuma  yamututte okumyuka akulira OWC , Gen Kasura Kyomukama  yatwaliddwa mu civil service ne Brig Charles Kisembo yamusindise okukulira ebbanguloro ly’ebyobufuzi e Kyankwazi.Enkyukakyuka zino zibadde zirindiddwa okuva Pulezidenti lwe yalonda Gen David Muhoozi abadde CDF ku bwaminisita omubeezi mu minisitule y’ensonga ezomunda mu ggwanga.Wabula abamu ku Bannna byabufuzi nabo boogedde ensonga lwaki pulezidenti Museveni yakoze enkyukakyuka zino.
Ronald Balimwezo mubaka wa Nakawa East , agambye nti Museveni ali mu kawefube wa kunyweza ntebe ye era kati apanga ngeri gyanaleeta mutabani we Kainerugaba Muhoozi  mu ntebe wamutadde okuddumira amagye g’okutaka ayagala abeeere nga yekeneenya  buli nsonda okulaba nga tewali  kabi konna katuuka ku kitaawe.
John  Baptist Nambeshe ,  Nampala w’oludda oluwabuka gavumenti mu palamenti kino ekyakoleddwa Museveni abazza ku leeta mutabani we mu ntebe sosi kwongera bukuuumi ku Uganda.
Godfrey Kiwanda Suubi amyuka ssentebe wa NRM mu Buganda , yagambye nti  ekyukakyuka ezaakokeddwa mu magye zabulijjo sosi nti waliwo gwebagala okuleeta mu kifo kyonna oba Museveni okwenywereza mu buyinza n’olwekyo banna Uganda babeere bagumu pulezidenti amanyi kyakola era akikola kulwabulungi bwa ggwanga.

ReplyReply allForward

Related posts

Omubiri gwa Wameli gukomezeddwawo e Uganda.

OUR REPORTER

Ssaabasajja aweereddwa emmotoka eyali eya Ssekabaka Muteesa II ng’ ekirabo ky’ Amazaalibwa ge ag’e 67.

OUR REPORTER

Eyali agezaako okukukusa omuwala atanneetuuka asindikidwa e Luzira.

OUR REPORTER

Leave a Comment