FDC efulumizza enteekateeka ey’okulonda obukulembeze bwayo okuviira ddala ku byalo okutuukira ddala ku pulezidenti w’ekibiina.
Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi, Boniface Toteremuka Bamwenda, akulira eby’okulonda mu FDC yagambye nti okutandika n’omwezi guno ekibiina kyakutandika n’okusomesa abanaayambako mu by’okulonda mu bitundu eby;enjawulo.
Enteekateeka eno yasalibwawo akakiiko akafuzi aka NEC mu lutuula olwaliwo ku Lwokuna nga May 12 ne kasalawo okulonda okutandika nga May 23 2023.

Yayongeddenti ekibiina kyakuddamu okuwandiisa bammemba baayo okuva nga June 10 okutuusa June 18, awo okulonda abakulembeze ku byalo kutandike nga June 19, okulonda ku miruka kwa July 3 okutuusa July 07, ku gombolola nga July 10-July 14, ku konsisituwensi nga July 17 ne July 21 ate ku disitulikiti kwa July 24 okutuusa July 28.
Bamwenda yategeezezza nti okulonda pulezidenti w’ekibiina kwakutandika mu September 19 nga abaagala ekifo baggyayo empapula okutuusa September 22, oluvannyuma akakiiko ka NEC kaakulonda obukulembeze buno nga November 23 ne November 24.

Ekibiina kyalonze abagenda okukikwatira bendera mu kulonda okugenda okuddibwamu e Bukedea. Baalonze Sam Odeke okukikwatira bendera ku bwa Sentebe bwa Disitulikiti ne William Okia ku bwa kkansala bwa disitulikiti.
John Kikonyogo, amyuuka omwogezi wa FDC yagambye nti bategeezezza ssabawandiisi w’ekibiina okuwandiikira poliisi nga batangira okutulugunya kwabantu baabwe abalondeddwa okubakiikirira mu bifo bino.