Ekibiina kya NUP kiwadde pala-menti n’akakiiko akavunaanyizib-wa ku ddembe ly’obuntu olukalala lw’abantu 25 abagambibwa okuba nti bakwatibwa abateeberezebwa okubeera abakuuma ddembe nga batambulira mu mmotoka ya Drone.
Ku lukalala luno luliko abantu abamaze emyaka egisukka mu ebiri nga tebaleetebwanga mu kkooti n’abalala abaakakwatibwa nga bawagizi ba kibiina kya NUP.Okuwaayo lukalala luno kid-diridde omumyuka wa sipiika, Thomas Tayebwa okulagira Minis-ita w’ebyokwerinda, Jim Muhwezi annyonnyole palamenti lwaki ne gye buli kati abantu abatannat-egeerekeka bakyakwata abantu mu ngeri emenya amateeka.Mu bbaluwa Rubongoya gye yawandiise yalaze amannya g’abantu abagambibwa okubuzib-wawo abasuka mu 30
Olukalala luno kuliko: Jumashid Kavuma, Muham-mad Kanatta, Godffrey Kirumi-ra, Denis Zzimula, Jonh Bosco Kibalama, Jonh Ddamulira, Moses Mbabazi,Vicent Nalu-moso, Martin Lukwago,Yuda Ssempijja ne Musisi Mbowa. Abalala kuliko Peter Kirya ,Shafiq Wangolo, Hassan Mubiru , Musa Luwemba, Denis Ssesaazi, Musa Kisembo, Harunah Sonko, Charles Ntale, Abdul Bayan Babu, Justus Ahumuza, Micheal Ssemuddu ne Muhamad Lubega Immaculate Namujju mwanny-ina wa Jamshid Kavuma omu ku baabuzibwawo yattottodde engeri Kavuma gye yakwatibwamu kumpi buli eyabaddewo amaziga ne gamuyitamu. Ono agamba nti Kavuma bamukwatira Lugala e Lubya ng’abaamukwata bajjira mu Drone.Ssentebe w’e Lugala Gonzaga Kabuye gye bakwatira Kavuma yategeezezza nti abantu abata-manyiddwa baalumba ekyalo nga naye kennyini tamanyi era yawu-lira masasi nga gavuga yagenda okutuuka mu kifo nga bagenze nga ne Kavuma bamututte era okuva olwo bamunoonya teban-naba kumuzuula.