Ekifo abazigu 4 aballi batambulira ku piki piki za boda boda webakubidde Gen Katumba Wamala , muwale Brenda Nantongo dereeva sgnt Harunah Kayondo nga bano bafiriddewo nabalala abakubiddwa amasasi ku lw’okubiri nga 1 omwezi guno ekifo kikyakumibwa magye , poliisi n’ebitongole ebilala
Sali Kibalama omutuuze w’e Kisota ewabadde okutalo agambye nti embeer aekyali ya bunkenke mu kitundu kyabwe kubanga amagye gakyagumbye ekitundu kyonna era tewali muntu akirizibwa kusambilira ku luguudo ewali ettemu.
Ekyalo Kisota okuva Gen Katumba weyakubibwa amasasi ne banne eby’okwerinda bikyali bya manyi era abantu bayingira mangu mu mayumba gabwe olwa magye obutakiriza muntu yena kutambula a nga obudde buzibye.
Brenda Natingo yazikiddwa ku kyalo Kikandwa ekisangibwa mu disitulikiti y’e Mukono nnamungi w’omuntu wakati mu bakungubazi okubanja gavumenti lipooti ekwatagana kubulumbaganyi buno
Banaddini nga bakulembeddwa DR steven Kazimba Mugalu eyakulembeddemu okusabira omwoyo gw’omugenzi mu maka ga Gen Katumba Wamala e Kikandwa basabye sabaddumizi wa magye Gen David Muhoozi nti ku mulundi guno banguyeko lipoti ekwatagana ku ttemu eryakoleddwa ku Katumba ne bane kubanga bavuddeyo nebalaga nti balina ebifaananyi bya batemu abagambibwa okubeera nti bebetabye mu kikolwa kino.
Kazimba yagambye gavumenti ekole kunsonga ye mmundu eziyitiridde ezili mu bantu kubanga zino nazo zeziviriddeko obutemu okweyongera nasaba gavumenti eyongere ku bukuumi eri abantu abali mu mbeera y’obunkenke okubataasa ku bantu ababi abagala okubasanyaawo.
Ayongeddeko kuluno lipooti efulume mangu kubanga aantu emitima gibali bubi bagala okumanya ababadde emabega wettemu lino
Gen David Muhoozi mu kwogerako ne eri abakungubazi yasubizza okukola kyonna ekisoboka okukabanga nga abakoze ekikolwa kino bonna bakwtibwa era nti batandisedda okunonyereza
Bannabyafubuzi abetabye mu kuziika benyamidde olw’e bitongole obutavaayo kuwa Gen Katumba bukuumi ate nga bakimanya nti waliwo abantu abamulondooola okumutusaako obulabe nebagamba nti kononekyakoleddwa libeera somo eri gavumenti okutaasa abantu mu nsi ate nga balina kyebakoledde egwanga lino
Ruth Nankabirwa eyakilidde gavumenti yasabye abantu nti gavumenti egenda kukola kunsonga yabantu ababade mu ttemu lino kubanga ebitongole bya securite bitandise omuyigo okuzuula buli sekinoomu eyabadde emabega we ttemu lino.
Gen Katumba Wamala yagambye ntiwade akyalina obulumi naye tagenda kutuuka butuuzi ku kikolwa ekyamutidde abantu be saako naye okulumizibwa nti agenda kukola ekisobokka kyonna okukaba nga bafuna obw’enkanya ku kyamukoleddwako.
Ate Mukyalawe Catherine Wamala yagambye abantu omusabira kubanga akaseera kalimu kazibu nnyo abadde yakafiirwa maama we Elizabeth Mukasa kyokka ate afiriddwa omwana we abadde abayamba mu buli kimu nasaba abakulira eby’okwerinda okubayamba bazuule ababadde emabega w’ebiklwa bino