22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Ekirwadde kya namusuna   kitadde  abatuuze  be Luweero ku bunkenke.

EKIRWADDE kya namusuna kitadde  abatuuze b’e Kikyusa mu disitulikiti ye Luweero ku bunkenke nga tekitaliza kikwata abakulu n’abato. 

Abamu ku balumiddwa ekirwadde kino okuli: Jalia Naigaga 22 yategeezezza nti oba toyagala kulya , ofuna ebbugumu mu mubiri, omutima guba gwewuuba, omukulu oba olina kusiiba mu nju kuba oba toyagala kwambala ngoye olwokwetakula buli wamu,okunaaba kizibu kuba buli lw’onaaba byongera okusiiwa.

Steven Baguma, omuwandiisi ku Lukiiko lwa LC ku kyalo Lukowe mu muluka gw’e Lubengo mu  ggombolola y’e Kikyusa mu Disitulikiti y’e Luweero yangambye ekirwadde kingi nnyo mu bantu nga kisinga mu baana bato kyokka nga mu mwalwaliro ga gavumenti teriiyo ddagala.

Florence Ndali, ng’ono Alina abaana bataano abalumbiddwa ekirwadde kino yasabye abakulembeze okubayambako babafunire ku ddagala kuba kitta.

Famire endala ezikoseddwa ekirwadde kino kuliko: eya Ronald Kyubwa , eya Regina Najjuka ne ndala nga Kiri ku byalo eby’enjawulo okuli: Kayonza , Mayangayanga, Manywa n’ebirala.

Related posts

Ebya Kadaga tebinaggwa

OUR REPORTER

Amassomero ggagaddwa lw’abayizi kusangibwamu corona

OUR REPORTER

Museveni akubagizza abaafiiriddwa abantu baabwe ku Freedom City.

OUR REPORTER

Leave a Comment