March 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Ekitebe ky’Amerika mu Uganda kisuubiza okuyambako Nnaabagereka kumirimu gy’Ekisaakaate.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda asisinkanye omubaka w’ Amerika mu Uganda, Natalie Brown nebabaako ensonga enkulu zebateesaako.

Ensisinkano eno yabadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nga yabadde yakyama.

Okusinziira ku Muky. Susan Busuulwa Lubega abakulu bano bayogedde  ku nsonga eziyamba abaana, abakyala, abavubuka n’emirimu gy’Ekisaakaate.

Ono yategeezezza nti  Nnaabagereka ayanjulidde Omubaka Natalie ekittavvu ekiggya kye yatandiseewo ekya Nnabagereka Nagginda Women’s Fund, mwagenda okuyita okukungaanya obuyambi obw’okutaasa abaana, abakyala n’abavubuka, ku nsonga z’ebyenjigiriza, eby’obulamu, n’eby’enkulaakulana.

Muky. Busuulwa yategeezezza nti enteekateeka bwe zinaaba ziwedde, ekitebe ky’Amerika mu Uganda kya kukwasizaako Nnaabagereka okuggusa obuvunaanyizibwa buno.

Ono yannyonnyodde  nti balina ekigendererwa eky’okukyusa endaba y’ebintu oluvannyuma lwa Ssennyiga Corona eyagootaanya eby’ebyenfuna mu ggwanga lyonna.

Ensisinkano yeetabiddwamu Ssaabawolereza wa Buganda era Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Christopher Bwanika.

Related posts

Abalimi bagala gavumenti eyongere amanyi mukulima emmere enansi

OUR REPORTER

Abasuubuzi-bazinzeeko-bbondi-yemmotoka.

OUR REPORTER

Bobi Wine asabye bannakenya okwewala okukopa abakulembeze ba Uganda.

OUR REPORTER

Leave a Comment