Bya Ssemitego Vicent e Mubende.Ekitongole kya mildmay Uganda kya kuyamba abaana abazalibwa n’obulemu ku mimwa gy’ombi oggwawaggulu n’ogwawansi bwebayita obwa NAKIMU okuva mu disitulikiti nnya omuli Mubende,Mityana,Kassandra me Luwelo. Omukyala Jannet mudoola okuva mu kitongole kya mildmay Uganda yategeezezza abaabadde mu musomo gunno oggubadde ku Primerose hotel e Mubende nti bakujjanjaba abaana bonna okuva mu disitulikiti ezo waggulu ku bwereere nga ne sente zonna omuzadde z’anaba akozesezza okumutwala mu ddwaaliro zakumuddizibwa ono era yagaseeko nti balabye nga kitwala sente nnyingi okujjanjaba abaana abaliko obulemu bunno nabo kwekusalawo okuvaayo bayambeko ku bazadde abasobeddwa. Ssekanolya bweyayogeddeko n’abamu ku beetabye mu musomo gunno omwabadde omwami Ssempijja Andrew mukasa yasanyukidde nnyo enkola eno era n’ategeeza nga bwebagenda okukunga abantu abalina abaana okubatwala basobole okuyambibwa.

previous post