21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireEbyobusubuziEssanyuFeatured

Ekitongole ky’Obwakabaka ki Majestic Brand kyafunye Bboodi empya.

Ekitongole ky’Obwakabaka ekivunaanyizibwa ku kutunda n’okutumbula ekifananyi kyabwo ki Majestic Brands kyafunye bboodi empya okwongera okutumbula emirimu.

Bweyabadde atongoza bboodi eno, mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasiimye olukiiko olukadde olw’omulimu amakula ogukoleddwa.

“Kiba kizibu okukola nabamanyi ate nosemba, olw’okubanga bboodi eno eriko abamanyi  era abantu abalina obumanyirivu obwamanyi era abakozi sirina kubuusabuusa nti tugenda kutambula nga tudda mu maaso. Mbeebaza okukkiriza obuweereza,” Katikkiro Mayiga.

Owek. Mayiga yabasabye obutalowooza nti obuvunaanyizibwa obubaweereddwa bwa Nnakyewa kuba Obuganda bwabwe era beebagala emirembe egirijja okumanya nti baakola nabeebaza okukkiriza obuvunaanyizibwa buno.

Mayiga yagambye nti okuva Kabaka lweyamuwa obuvunaanyizibwa  ekintu ku bintu ebyenkizo Buganda byekoze kwekutondawo ekitongole ki Majestic Brands ekyayamba okulung’amya entambuza y’emirimu mu Buganda ekireseewo enkulaakulana.

Ono yannyonnyodde nti ekifananyi ky’Obwakabaka bwa Buganda kyekimu ku by’Obugagga, Abaganda byebalina era ekifananyi kino kye kitiibwa kya Ssaabasajja Kabaka nasaba bakiwanirire, bakiyitimuse era bakimanyise ab’ebweru.

Ow’omumbuga aytegeezezza nti wadde emyaka 8 egiyise basobodde okutambulako, nga bavudde wala ku maanyi, okwewaayo n’obumanyirivu bwabo ababadde ku bboodi ewummudde nasaba bboodi empya okutwala omulimu guno mu maaso.

Minisita avunaanyizibwa ku byensimbi nÓbusuubuzi mu Bwakabaka era nga ye mumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek Robert Waggwa Nsibirwa ,yeebazizza ba mmemba abawummudde ku lukiiko luno olwebirungi byebakoze mu Bwakabaka, omubadde okuwagira ebyemizannyo nga tebeebalira, okulwanyisa Mukenenya nÓkusitula embeera zábantu mu Bwakabaka.

Ssentebe wa boodi ya Majestic Brands omuggya, Omuk Robert Nsereko yategeezezza nti wakwesigama nnyo ku nkola ejjuddemu obulambulukufu , naawa obweyamo obw’okuweereza Kabakawe nÓbwakabaka mu bwerufu n’okwagala.

Bboodi eno ekulemberwa Omw. Robert Nsereko nga abalala abagiriko ye Omuk. Remmy  Kisaakye, Omuk Fred Masadde Kabuye, Omuk. John kizito Kaggwa, Omuk. John Kitenda, Omuk. Adrian R Bukenya Mulindwa ne Sofie Nantongo.

Related posts

LWAKI OMUBAKA NAMBOOZE ALEMEDDE KU BYOBUTWA :OULANYAH

OUR REPORTER

Emmotoka etomedde omuyizi wa UCU.

OUR REPORTER

Uganda yeyongedde okufuna ssente mu Mmwaanyi .

OUR REPORTER

Leave a Comment