21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
EssanyuFeatured

Ekivvulu kya Spice Diana kyengedde

Enteekateeka z’ekivvulu kya ‘Spice Diana live in concert’ ziri mu ggiya.

Enteekateeka z’ekivvulu kya Spice Diana ekitumiddwa ‘Spice Diana live in concert’ ziwedde. Atandikira ku Freedom City nga January 17, 2020 oluvannyuma atalaage ebitundu by’eggwanga ebirala.

Ng’ayanjula enteekateeka z’ekivvulu kye mu butongole mu lukung’aana lwa Bannamawulire lwatuzizza ku situdu yo eya 32 records e Makindye olunaku lwa leero,

Spice abadde ayogeza amaanyi ategezezza nga bwasiiba n’okusula ng’awawula ddoboozi atuuke kulunaku lw’ekivvulu nga teririimu wadde akasaaniiko.

imon aseruka owa ukedde owokubiri ku ddyo ngasiima pice okukuba emiziki SSimon Maseruka owa Bukedde (ow’okubiri ku ddyo) ng’asiima Spice okukuba emiziki
Ng’ogyeko bannamawulire, olukung’aana luno lw’enjawulo lwetabiddwako abayimbi, bannakatemba, ba DJ, ba MC b’okubivvulu wamu n’abawagizi be era wano Spice wasinzidde okusiima maneja we Roger Lubega na buli muntu alina kyamuyambyeko oba okumugattako mu lugendo lw’okukuba emiziki lwaliko ekimufudde omu ku bayimbi abasinga okukuba emiziki mu ggwanga.

Ye Pulodyusa Bushington eyawereddwa obuvunanyizibwa okukuliramu enteekateeka konsati eno agambye kumpi buli kimu kiwedde era asuubiza abantu okulaba ekivvulu kya Munnayuganda ekitabangawo,

ekitegekeddwa mu mbeera etali ya bulijjo okusinga ne ku bayimbi abamu abava ebweru olw’ebirungo ebikisiddwamu.

bamu ku bantu ababadde ku situduyo ya pice mu lukungaana lwa annamawulire Abamu ku bantu ababadde ku situduyo ya Spice mu lukung’aana lwa Bannamawulire
“Ekivvulu tukitegese ku mutindo ogwa waggulu era kya kuyimba laayivu. Spice agenda kuyimba ennyimba 15 era agenda okuyimbira essaawa biri awatali kusirisamu ekitegezezza nti abayimbi bonna abagenda okumuwerekerako balina okuyimba nga tezinaba kuweera ssaawa 3:00 ez’ekiro.”

Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde era Simon Maseruka kulwa Bukedde agambye nti ng’ogyeko okumanyisa abantu buli kimu ekikwata ku Spice ne kivvulu kye,

Abalaba ba BukeddeTv, abawuuliriza ba Bukedde Fama n’abasomi ba Bukedde Olupapula bagenda kubawa omukisa okuwangula tikiti ezibatwala mu kivvulu kino nga bayita ku mikutu gya Bukedde famire egyenjawulo.

Abagenda okusasula okuyingira ku Freedom City 10,000/- ate VIP 30,000/-.

Related posts

Gen. Katumba mu Cosase; Pulezidenti ye yalonda akulira kkampuni ye nnyonyi sinze.

OUR REPORTER

Ekitebe ky’Amerika mu Uganda kisuubiza okuyambako Nnaabagereka kumirimu gy’Ekisaakaate.

OUR REPORTER

Ababbye owa mobile money basimattukidde watono.

OUR REPORTER

Leave a Comment