Ekizungirizi kya Uganda kyaddaaki kisindikiddwa mu bwengula oluvannyuma lwakino obutasoboka eggulo ku Ssande olw’okubaawo okulabula okuva ku kadde akalabula ku muliro era aba National Aeronautics and Space Administration (NASA) nebongezaayo okutuuka leero .
Olwa leero ku Mmande byonna bitambudde bulungi e Dulles, Virginia mu Amerika era ku ssaawa 7: 27 ekivungirizi kino ekituumiddwa PearlAfricaSat-1 kyolekedde obwengula .
Ekivungirizi kino kyazimbiddwa ba Yinginiya bannayuganda basatu okuli’ Edward Mujuni, Bonny Omara ne Derrick Tebusweke wansi w’omukago gwa BIRDS Program ogwa Japan oguyambako amawanga agatanagenda mubwengula okukikola.
Kinajjukirwa nti Uganda yakola omukago naba Kyushu Institute of Technology (Kyutech) e Japan nga mukino baalina okuyambako bayinginiya basatu okuyiga engeri y’okukolamu ebivungirizi, okubigezesa era bano balina okukolera Uganda ekizungirizi ekisookera ddala.
Ekizungirizi kino kigenda kuyamba okunoonyereza n’okwekeneenya ku nteebereza y’obudde, ettaka, amazzi n’okuzuula eby’obugagga by’omu ttaka, okulondoola eby’obulimi, okuteekerateekera eggwanga, okunyweza eby’okwerinda ku nsalo awamu n’okwerinda obutyaabaga.
PearlAfricaSat-1 egenda kuyamba okukwata ebifananyi nga kisinziira mu bwengula okulaga omutindo gw’ amazzi, obugimu bw’ettaka, enkozesa y’ettaka awamu n’ensonga endala enkulu.
Kati Uganda ejja kusobola okwawula ettaka eririko ebibira nebitali, erya ffaamu awamu n’okulaga engeri ebintu gyebikulamu okusobola okutumbula embeera z’abantu mu ggwanga.
Ekizungirizi kino era kyakukola ekyamaanyi ku kusima amafuta awamu ne ggaasi awamu n’okulondoola omudumu gw’ amafuta agasimwa mu Uganda.