EMIKOLO egy’okujjukira emyaka ebiri bukya eyali ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga afa gikulembeddwa ekitambiro kya Mmisa ekulembeddwa Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere ku Lutikko e Lubaga.
Ssaabasumba Ssemogerere ategeezezza nti engeri ssaabasumba Dr. Lwanga gye yafaamu kyakuyiga gye tuli era kituyigiriza okubeera abeetegefu obudde bwonna kubanga bangi bafa mu mbeera Ssaabasumba gye yafaamu nga tebalwadde.
Wano we yasinzidde n’akubirizza Abakristu okubeera abeetegefu ekiseera kyonna nga Ssaabasumba bwe yayigirizanga omukama asobola okubasanga nga beteeseteese bulungi.
Ayogedde ku Dr. Lwanga ng’omuntu eyawaayo obulamu bwe bwonna okukyusa obulamu bwa bantu obw’omubiri n’omwoyo mu bikolwa mu masaza okuli erya Kasana -Luweero ne Kampala n’eggwanga lyonna naddala eby’enkulaakulana.
Yasabye Abakristu okwongera okumusabira Katonda asinziire ku bikolwa bye ebirungi amutuuse mu bwakabaka bwe obutaggwaawo.

Yayogedde ku bulamu bwe obwasembayo ng’obwali akabonero akatuufu akalaga obulamu bwa Kristu bwe yayitamu ng’agenda okufa olw’okufa oluvannyuma lw’okwetaba mu kutambuza ekkubo ly’omusaalaba n’abakulembeze b’enzikiriza endala ekikolwa ekyakulembera okukomererwa n’okufa kwa Kristu.
Dr. Lwanga yafa ku Lwomukaaga olutukuvu April 3, 2021 era yafiira mu buliri oluvannyuma lw’okutambuza ekkubo ly’omusaalaba.
Yazaalibwa January9 , 1953 e Kyabakadde Mukono, April9, 1978 yafuna obusaserodooti ,yaliko omuwandiisi wa kalidinaali Emmanuel Nsubuga, yaliko omumyuka wa bwannamukulu w’ekigo kye Nabbingo, era yaliko bwanamukulu w’ekigo ky’e Ndeeba.
Yalondebwa okubeera Omusumba wa Kasana-Luweero mu 1996 okutuusa 2006 bwe yalondebwa ku bwa Ssaabasumba bw’Essaza ekkulu erya Kampala ng’adda mu bigere bya ssaabasumba eyawummula kalidinaali Emmanuel Wamala.