17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
Uncategorized

Emiwendo gya MTN MoMo emipya jicamude Bannayuganda

Emiwendo gya MTN MoMo emipya jicamude Bannayuganda.

Ssabbiiti bbiri emabega kkampuni ya MTN Uganda yasala emiwendo gy’okujjayo ssente mu nkola eya MoMo mu kaweefube waabwe okusitula eby’enfuna bya bannayuganda mu Ggwanga ebibadde biserebye era n’okwongera ebirungo mu bakasitoma baabwe bye bafuna nga bakozesa enkola eya MTN MoMo

MTN era eyongeddemu ebirungo ebipya ku buli agyayo ssente  ekituumidwa Senkyu pulogulaamu eri bakasitoma baabwe nga kitegeeza nti bakastoma baweebwa obubonero bwa Senkyu  buli lw’ajjayo oba okusindika ssente zonna nga bakozesa enkola ya MoMo

Obubonero bwa Senkyu busobola okukyusibwamu airtime, SMS, MBs ezo obwerere nga ate zisobola okozesebwa okusasula eby’amaguzi mu nkola ya MoMo pay nga okozesa ‘marchant code’ okwetooloola eggwanga lyonna. Ku miwendo egisaliddwa, bakasitoma bakuba nga tebakoma kukusasula miwendo mitono nga bajjayo ssente naye era bagenda kuba baffisa akasente akandibade kagendera mu kugula airtime, MBs oba MoMo pay olw’okuba Senkiyu zisobola okusasula ebyo.

Omugano guno MTN gwe tandise gucamude ba kasitoma baayo okwetooloola eggwanga era n’ebategeeza nti eno enkola ejja kubawewulako ku mbeera y’ebyenfuna ebadde ebeewanisiza emitima nga bagezaako okunyiga ebiwundu bya ekirwadde kya COVID19.

John Okware omutuuze we Seeta Mukono agamba nti kkampuni endala zikole nga MTN nga zifaayo eri ba kastoma baabwe naddala mu biseera ebizibu nga bino.

“Mbadde kasitoma ku mukutu ggwa MTN kati emyaka 5. Njagala nnyo enkola zaabwe naye okusinga ndi musanyufu olw’enkola eno empya mwebasalide emiwendo gy’okugyayo at’era neba mpeerako n’obubonero okunnebaza buli lwe nkozesa mobile money, ebintu nga bino bilungi nnyo eri ffe,” Okware bweyayogede.

James Sekasi omugoba wa boodabooda ono bakastoma bamwesiga okubatambuliza ebintu byabwe “bakastoma bange buli kiseera babeera bankubira okubagulira ebintu mu katale okubibatuzizza mu maka gaabwe nga bakozesa mobile money bwansidikira ssente, nfisa ku kasente buli lwe nzijjayo ate nenkozesa obubonero bwa Senkyu okufuna airtime owobwereere okubakubira mbategeeze ebintu byabwe nga bituuse. Kino kinkolera,”bwatyo bweyagambye.

Mu myaka gyonna MTN MoMo ebadde ekyusakyusa enkola zaayo mu ggwanga okusobola okukyusa obulamu bwa bannayuganda mu mbeera yonna. Abasuubuzi naddala abali abo abobukolero obutono enkola zino kati nyagu okufuna oluvannyuma lw’okubalukawo ekirwadde kya COVID 19 ekya leetera bangi okwettanira okutambuliza ssente ku ssimu.

“Bangi ku bakastoma baffe batukubira nga bagula okubagulira ebintu n’okubibatuusiza mu maka gaabwe, kubanga obunji bwabo abajja okugula bwakendeera oluvannyuma lw’omuggalo ogwaliwo kubanga tetwafiirwa nnyo twasigala tukola era tuweereza abantu baffe mu mpolampola. Emiwendo ejisaliddwa mu kugyayo ssente gitukolera era twebaza n’obubonero bwa Senkyu okuva mu MTN. kubanga tetukyagula airtime. Tusaba obubonero bwa Senkyu” bwatyo Suzan Amuge akola mu wooteeri eNajjera bwannyonnyola. 

Stephen Mutana, akulira enkola ya Mobile money agmba nti emiwendo gino egisalidwa byebimu KKAMPUNI Ya MTN by’egenda okukola okutuusa empereza enungi esoboka eri banayuganda.

“Empeereza y’omukutu ggwaffe nga eno gye tuleese si kwejalabya naye kyetaago omutu yenna kyeyetaaga ekiseera kyonna, abantu bajja kwagala MoMo lwa nsonga nti ebeerawo mubiseera ebya kazigizigi okubataasa. Obuweereza bwe bukula okuva kumutendera ggwotasobola kuleka bantu mabega, okola ekisobo okulaba nga empeereza ebeera ya mulembe ng’esobola okuyamba abantu ku miwendo emitono,”bwatyo Mutana bwe yagambye.

Mutana anyonyola nti MTN buli kaseera eyiiya era n’ezuula enkola okuzimba empeereza ennungi era okugifuula ennyangu eri abantu.

Related posts

How-to Navigate Sports Period As Soon As Your Companion Hates Activities

vega

A new boxing gym in Monroeville gives women the opportunity to train

vega

The Catcher in the Rye: The Catcher in the Rye Chapter 1 Summary & Analysis Book Summary & Study Guide

OUR REPORTER

Leave a Comment