Police y’ebidduka mu district ye Mpigi etandise okunoonyereza ku kabenje akagudde okumpi n’akabuga ke Kayabwe, mmotoka kika kya Range Rover Sport namba UAS 066Q bwekutte Omuliro ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka nebengeya yonna nesaanawo.
Akabenja kano kaguddewo mu budde obwokumakya, abadde omugoba wa mmotoka Range Rover spot Emorut Joshua Egweu owe Mutungo, bwalabye omukka nga guva mu mmotoka eno ebadde edduka obuweewo, kwekusalawo okugisimba ku mabbali g’ekkubo okulaba ogubadde.
Abadde yaakava mu mmotoka omuliro negutandika okwaka, era abatuuze balemereddwa okuguzikiza police ezikiriza omuliro wetuukiddewo nga tewakyali kyakutaasa.
Omwogezi wa police y’ebidduka mu ggwanga Farida Nampiima agambye nti abakugu ba police y’ebidduka batandise okwebejja emmotoka eno, okuzuula ewavudde obuzibu.