EMMOTOKA etomedde omuyizi wa university e Mukono nafiirawo.
Afudde ye Masereka Saletie 24 ng’ono abadde asoma mateeka mu ttendekero lya Uganda Christian University e Mukono nga wafiiridde abadde ali mu mwaka gwe ogw’okuna.
Omuyizi ono kigambibwa nti abadde asala ekkubo okuva mu kisulo gyabadde asula ng’agenda ku ttendekero okusoma emmotoka n’emutomera ng’eno tesobose kutegerekako nnamba oluvannyuma lwa nnyini yo okumala okukola akabenje nadduka.
Ababaddewo nga kabenje kano kagawaawo bategeezezza nti omuyizi ono abadde ayogerera ku ssimu ng’asala oluguudo nti olw’okubanga abadde ebirowoozo abitadde ku ssimu tasoose kuwulira ngombe ya mmotoka era nti

ddereeva w’emmotoka eno ekika kya takisi etasobose kutegerekako nnamba olumaze okutomera nadduka nga abaddukirize webatukiddewo abasobodde kuzuula ssimu yokka omugenzi kwabadde ayogerera era nti n’omuntu gwebadde ayobgera naye abadde tanavaako ng’ono gwebategeezeza ng’omuntu gwabadde ayogera naye bwafudde oluvannyuma akubidde aboluganda abalala ku kibadde kiguddewo.
Mwanyina womugenzi Kyakimwa Komedia yategeezeza ng’amawulire ga mwanyina okutomerwa mmotoka bwebagafunye okuva ku woluganda lwabwe abaddukirize gwebasoose okukubira nga bamutegeeza nga bweyatomeddwa mmotoka afiirawo.
Poliisi ye bidduka e Mukono yaguddewo fiyiro kwebagenda okwesigamya okunoonyereza kwayo ku musango guno ng’eri TAR 057/2023.
Omulambo gw’omugenzi gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lwa begandaze okutuuka nebasobole okukola ku nteekateeka z’okugutambuza okuguziika.