Abayizi basatu bebakakasibwa nti baafiiriddewo mbulaga oluvanyuma lw’emmottoka ey’ekika kya Sino truck namba UBL 790J okuwaba nekiyingirira essomero lya Kasaka Secondary School mu Gomba
Emmotoka eno ebadde yetisse omusenyu ng’eva Mityana ng’edda mu tawuni ye Kanoni mu Gomba eremeredde omugoba waayo neyingirira essomero lya Kasaka Secondary School erisangibwa mu town council ye Kanoni mu district ye Gomba.

Bino bibaddewo mu nkuba ebadde etonnya abayizi babadde mu kibiina nga basom
Emmotoka eno eya Sino truck eyingiridde ebibiina bisatu nebigwira abayizi n’abasomesa, era bangi ku bbo basigadde banyiga biwundu ate ebintu by’essomero ebiwerako nebyonooneka.
Kiviiri Godfrey ssentebe wa district ye Gomba agambye nti abayizi abawerako n’abasomesa babiribaddusiddwa mu malwaliro