Abakulembeze ba takisi bakanyizza nebasalawo okwongeza ebisale by’entambula kubanga bakizudde nti babadde bakolera mukufirizibwa.
Aba takisi basinzidde mu lukungaana lwebatuzizza ku wooofisi zabwe mu Kampala ku kizimbe kya Nalubwama nebagamba nti bakanyiza bongere ku muwendo gw’ebisale olw’ebbeeyi ya mafuta erinye kubanga kati Liora emu egula 5600 ekintu eky’ebeeyi bakolera mafuta gokka olumu ne ssente za bakama bwabwe tebakyasobola kuziwezza olw’embeera eriwo kati basazeewo bongeremu ku ssente bagyeyo ssente zebasasanyiza mu mafuta.
Rashid ssekindi omu kubakulira Takisi mu Kampala agambye nti emmotoka esabaza abantu mu bitundu bya Kampala nemiliraaano olugendo balwongeddemu nnusu 1000,ate engendo ezesudde Kampala bayongezza nnusu 3000 kisobozese baddereva abali mu mulimu gwa takisi okugyayo ssente baleme kukolera bwerere.
Kyokka waliwo banabwe okuva mu paaka ez’enjawulo omuli Nansana Tax park abagmbye nti tebagenda kwongeza ssente kubanga abasabaze abatambula Valina batono nga bwebanabongeza kigenda kubagoba kwekisalawo emiwendo bagileke wansi.
Kyokkay wadde abatakisi bongenza ebislale by’entambula bilina kukakasibwa minisitule y’ebyentambula kubanga yevunanyizibwa ku nyambula bwebinakakasibwa abasabaze bagenda kutandika kusasula miwendo egyongezeddwamu nga bwebali bakola mu biseera by’omugalo.
Embeera eno etabudde abasabaze nebagamba nti emiwendo gy’ebintu okulinya tekiteegeza kulinyisa ntamabula kubanga sibebavunanyizibwa kubanga nabo tebalina gyebagya ssente .
Badereeva mu paaka za Bus Namayiba ne Kisenyi bagambye nti nabo bamaze etakateeka y’okwongeza ebisale kubanga babadde bakolera bwerere nga ssente ezisinga bazimalira mu mafuta nga tebafumamu ate nga balina okusasula abagagga bananyini bidduyka kwekusalawo bongeze ku beeyi y’e bisale am,a

EMIWENDO NGA BWEGIGEREKEDDWA
- Nsangi 3,000 4,000
- Mpigi 5,000 6,000
- Nansana 2,500 3,500
- Kakiri 3,500 4,500
- Busunju 6,000 7,000
- Kasubi 1,500 2,500
- Kayunga 8,000 9,000
- Nakifuma 6,000 7,000
- Kangulumira 10,000 11,000
- Kawempe 2,000 3,000
- Matugga 3,000 4,000
- Mukono 4,000 5,000
- Luzira 1,500 2,500
- Entebbe 4,000 5,000
- Kansanga 1,000 2,000
- Ggaba 1,500 2,500
- Mpererwe 3,000 4,000
- Gayaza 3000 4000
- Kalerwe 1,000 2,000
- Ntinda 2,000 3,000
- Luweero 7,000 8,000
- Mityana 8,000 9,000
- Mubende 15,000 16,000
- Byeyogerere 2,000 3,000
- Tororo 20,000 25,000
- Pallisa 18,000 23,000
- Mbale 20,000 25,000
- Kamuli 15,000 16,000
- Iganga 13,000 18,000
- Jinja 10,000 15,000
- Mbarara 30,000 35,000
- Hoima 20,000 25,000
- Masaka 15,000 20,000
- Busembatia 20,000 25,000
- Namutumba 20,000 25,000
- Bukedea 25,000 30,000
- Mbale city 25,000 30,000
- Bugiri 16,000 21,000
- Masaka city 14,000 19,000
- Kalisizo Kyotera 18,000 23,000
- Rakai 20,000 25,000
- Mutukula 25,000 30,000
- Rwamagwa 25,000 30,000
- Lyantonde 20,000 25,000
- Kyazanga 20,000 25,000
- Mbirizi 20,000 25,000
- Kinoni 17,000 22,000.