Poliisi e Katwe mu Kampala eri mukunoonyereza ku ttemu ly’amasasi eryabaddewo ku lw’okusatu lwa wiiki ewedde ekiro ku ssaawa 4 mu bitundu by’e Nateete eryafiiriddemu Magidu Mugwanya 43, omutuuze w’e Kibumbiro B Zone ekisangibwa mu divizoni y’e Rubaga mu Kampala.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiraano Luke Owesigyire ategeezezza nti ettemu lino lyavudde ku kanyoolagano akabadde mu bbaala emanyiddwa nga Bar Joint esangibwa e Nateete ey’omukyala ategerekeseeko erya Patience naye eyakwatiddwa poliisi okw’okujeemera ebiragiro bya minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa ekirwadde kya Covid 19.
Okusinziira ku Oweyesigyire ategeezezzza nti poliisi ezudde ebisosonkoke bya pisito mu mmotoka egambibwa okubeera ey’omugenzi era nti bigenda kubayambako okunonyereza.