24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Engeri Bannabuddu gye beejagamu olwa Kabaka okusiima okukulizaayo amatikkira ge aga 28

OLUVANNYUMA lwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okusiima okukuliza amatikkira ge ag’lomuundi ogwa 28 mu Lubiri lwe olw’e Nkoni, bannabuddu ssaako n’abantu ab’enjawulo abava mu ssaza lino n’abalala abaliraanyeewo n’abemikwano baatandise dda okwejaga n’okulaga essanyu bwebagenda okwanirizaamu empologoma mu lunnabe luno olwa lumiima mawuggwe ng’ennaku z’omwezi 31 omwezi guno.

 Era omulamwa gw’amatikkira g’omulundi guno gugamba Obuwangwa n’enono, okutumbula enkulaakulana y’abantu.

Okusinziira ku Ppookino w’esaaza lino Jude Muleke agamba ku mulundi guno wadde eggwanga lyonna lirina olunnabe lwa lumiima mawuggwe naye bannabuddu bangi basonze ssente okusobola okulaba nga baddaabiriza ennyumba eyitibwa Buddukiro ng’eno Ppookino mw’alina okuddukanyiza emirimu gy’essaza ssaako n’okukoleramu ebintu ebyenjawulo.

Ppookino Muleke agamba ababaka ba palamenti n’okusingira ddala abava mu Buganda ssaako n’abantu ssekinoomu bakoze kinene nnyo okulaba nga bateeka ettoffaali ddene ku mulimu gw’okuddaabiriza ennyumba eno.

Ayongeddeko n’agamba nti abakulembeze abagavumenti eyawakati bakola butaweera okusobola okulaba nga bakola oluguudo oluva ku kkubo e Nkoni okugenda ku Lubiri lwennyini kubanga lubaddemu empompogoma z’ebinnya nga ne Nnamunswa bw’abeera nti aluyitamu terumusanyusa ng’era bakola ekisoboka kyonna okulaba nga balumuwa ng’amakula.

Ppookino agamba okwawukanako ne bulijjo Ssaabasajja Kabaka bw’abeera asiimye n’alabikako eri abantu be bangi bakuŋŋaana ne bamulaga essanyu naye kumulundi guno bagenda kubeerako n’abantu batono ddala ku mukolo guno okusobola okulaba nga bagondera ebiragiro by’ekitongole kyebyobulamu okwetangira ssenyiga omukambwe ng’era omukolo tegujja kumalawo ssaawa nnyingi nnyo nga bweguzze gubeera.

Ssentebe w’ababaka ba palamenti eyakulembeddemu okusonda ssente z’okuddabiriza Buddukiro ssaako n’ebintu ebirala Francis Katabazi omubaka wa Kalungu East eyawangula minisita Vincent Ssempijja akwasizza Ppookino Jude obukadde bw’ensimbi obuwerako nga zino yazikunganyizza mubaka banne abava mu Buganda ssaako n’abo abava mu bitundu eby’enjawulo nga baagaliza enkulaakulana ennungi eri abantu b’Omutanda ssaako ne Buganda yonna okutwalira awamu.

Harriet Nakimuli omubaka omukyala owa Kalangala disitulikiti yagambye nti kyabadde kimukakatako okukwata mukaawaliggo n’aggyayo emitwalo ataano okusobola okulaba nga naye abeera n’ettoffaali lyabeera awaddeyo n’awera nti ensonga yonna ekwatagana n’Obwakaba bwa Buganda tasobola butasitukiramu n’awera okugenda maaso n’omutima ogutafa n’akungu n’abalala bonna abatannaba kuwaayo basitukiremu bunnambiro.

Related posts

Olukwe okwabya Nambooze, bamupangidde asisinkane mzee munkukutu

OUR REPORTER

FORTEBET-ALEX MUHANGI SOCCER TOUR BLOWS-UP MBALE PUNTERS.

OUR REPORTER

KITALO! Abaana babiri bagudde mu ddaamu.

OUR REPORTER

Leave a Comment