Embeera ya paaka enkadde eyongedde okutabula ba ddereeva ba takisi mu Kampala olw’okulwawo okugulibwawo ekintu ekireewo olutalo mu takisi .
Okusinziira ku baddereeva abakolera mu paaka eno bategezezza nti paaka kati wezezza omwaka mulamba nga ekkolebwa kyokka nga ebimu ku bintu KCCA byeyasubizza okuteeka mu paaka eno omuli amataala, ebyuuma eby’omulembe, nebilara nga bino byonna tebanabilaba mu mulimu ogukolebwa mu paaka kati.
Akulira ekibiina ekigatta aba takisi ekya UTRADA musitapher Mayambala agambye nti paaka kati wetuuse egenda kuleetawo olutalo singa tegulibwewo mu bwangu nasaba aba KCCA okwakunguya amangu omulimu gw’okugulawo paaka kubanga nabagagga abesomye okuwamba ekitundu ku paaka nabo besomye okutwala etaka lya paaka.
Waiswa Bogere ayagala akasoobo akakolebwa ku mulimu gwa paaka kakome aba takisi batandike okukolera mu paaka kubanga kati embeera wetuuse abatakisi omu akayanira obukulembeze bwa paaka eno .

previous post