Aba famire bakukuluma.
ABAFAMIRE y’omubalirizi w’ebitabo mu lukiiko lwe ggwanga olukulu lukukulumidde poliisi ya kunno obutatuuka mu budde nga muwala wabwe kati omugenzi Patricia Justine Nabugabo ng’afunye akabenje mu kiro ekyakeseza olunnaku lweggulo ku Jomayi-Nantabulirirwa mu division ye Goma ku luggudo oluva e Kampala okudda e Jinja.

Okusinzira ku nyina w’omwana ono Hanifah Namubiru bweyabadde ayogera mu kusaba okwabadde mu makka gabwe agasangibwa ku kyalo Ttakajunge mu ggombolola ye Nama mu district ye Mukono, agamba nti yasembye okwogera ne muwala we ku ssimu ku ssawa mukkagga ez’ekiro era wanno yamutegezezza ng’emotoka bwezitambula empola olw’omugotteko omungi era nga bwagenda okutuuka ekikerezi ewakka.
Namubiru yagenze mu maaso nategezza nti wanno yamgambye obutava mu line kuyita bbali oba okugezako okusalikiriza, wanno namugamba nti Maama komawo tewebaka nga tolabye ku muwala wo bwatyo namusibula, wabula oluvanyuma nga wayise eddakiika assatu essimu eyazmu okumukubira nga bamutegezza nga muwala we bwafunye kabenje.
Mu mbeera eno abafamire bagamba nti bagezezako okukubira poliisi ye Seeta okujja okutaasa omuntu wabwe kyokka ne babategezza ng’akabagali bwetabaddewo era kino kyatwalidde ddala essawa ezikunukiriza mu bbiri nga Nabugabo akyali ku kubo , okutuusa Taata we bweyakubidde omudumizi wa poliisi yalagidde nebasindiika kabagali eyaze mu mugya kukubo.
Poliisi ye biduuka eyogedde.
Omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga ASP Faridah Nampiima akakasinza kabenje kano , era mu kwogerako naye agamba nti akabenje kanno kaguddewo ekiro ekyakesenza olunnaku lweggulo nga ( Sande) ku ssawa mukagga n’ekitudu ez’ekiro nga kabadde wakati w’emotoka namba UBJ 255S ekika kta T/Sienta nga jeru lu langi n’emotoka eddala ezitamanyiddwa namba plate .
Afande Nampiima agenda mu maaso nategezza nti kigambimbwa nti emotoka eyatomedde eya’omugenzi yabadde y’amagye nga yamutomedde ku mukono gwa dureva , era ng’omutomera, Nabugabo Patricia kati omugenzi yabadde avudde mu motoka ye nadda mu lugundo atambule agende alabe obuvune obutusiddwa ku motoka ye, era wanno mu kutambula ng’adda kuludda emotoka we yatomedde wanno emotoka eyadde evva e Mukono ngedda Kampala eyabadde edduka ku misindi yamutomedde omulundu gunno nemumenya omukono, okugulu era feesi y’ono nesasika era ono gamba nti Nabugabo yaffiriddewo bulaga.
“ Oluvanyuma lw’okufuna amawulire ganno basajja baffe nga bakulembedwa atwala poliisi ye Seeta Boniface Nsiyabo nga yambibwako Police Constable Nkubiito n’owa traffic PC Odwori abazze nebekebenja ekifo awagudde akabenje kanno n’oluvanyuma omulambo nebakuteeka ku kabagali ya poliisi namba UP 5856 ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago okwekebejebwa.” Bwatyo Afande bweyategezezza.
Ono agenze mu maaso nategezza ng’emotoka y’omugenzi bwekumibwa ku poliisi ye Seeta nga n’okunonyereza bwekugenda mu maaso, ono agenze mu maaso nategezza nga bwebagenda okukebejja mu kamera zabwe ez’okuggudo okusobola okuyiga ba dereva b’emotoka zombi.
Ono akubiriza abantu abakozesa enkubo nti bwe babeera nga bafunye obuzibu ku makkubo , wakiri bayimirirega ebbali walyo awalungi okusobola okwewala ebizibu nga bino.
Ekanisa ya UCU entedereza omugenzi.
Omusumba we Kanisa ya United Christian Center ( UCC) esangimbwa e Nassuti mu Kibuga Mukono Stephen Ssemakula mu kusaba mu makka nga’abazadde be e Mukono, yateddereza ng’omugenzi bwabadde omuwereza omulungi ayagala Katonda ate gwebabadde benyumirizamu ennyo saako n’okumusubiramu bingi kuba abadde muwala atambulira mu Katonda era ono ategezezza nga bwebagenda okumusubwa ennyo.
Stephen Wanume ng’ono yakwasaganya emirimu ( Administrate) ku kanisa eno gamba nti omugenzi akabenje yakafunye ng’ava ku kambaga ka matikira aka mukwano gwe mu kibuga Kampala
Omugenzi abadde yakamala okutikibwa omwaka oguwedde era nga bade muwala wa Hanifah Nambuniru ne Robert Kayigwa omubaliririza w’ebitabo omukulu mu lukiiko lwe ggwanga olukulu, era nga wakuzikibwa leero e Wobulezi-Luwero.