Obubbi , obutemu obukolebwa ku luguudo lwa Northern By pass mu bitundu omuli Kalerwe , Kyebando, Bwaise , Mulago, Namungoona abakozesa oluguudo luno bagambye nti bali kubunkenke olw’ebibinja bwa babbi obbira ku lugudo luno nga bakozesa amayinja ennyondo , pevazi, obutayimbwa ne ebiso.
Fred Enanga omwogezi wa poliisi mu ggwanga yategezezza nti bakute abantu abasoba mu 70 abagambibwa okubera nti bebadde bakola obumenyi bwa mateeka ku lugudo lwa Northern By pass abakwate kuliko Adam Mind, Muwuzzi peter, Kato Ssegujja, Regan Namanya, Twebaze Harriet, Joshua Twebaze Zaka Katerege nabalala.
Polisi yategezezza ntiobubinja buno buteeka Road block mu nguudo nebefuula abaserikale mu budde bwa kafiyu nga balina obutayimbwa, emiggo ebisso , magalo nebintu ebilala ebikozesebwa okumenya eziggi bazingako emmotoka nebaazikuba bulooka ku ndabirwa nebagiyiwa nebagulawo nebayingira nebatulugunya dereeva nabamubbako ebintu bye.Ebitundu gyebasinga okubira kuliko Namugongo ku taawo , Nalya ku nkulungo , e Bwaise ku taawo , e Kyebando mulago , Kalerwe, mu Kampala ku mwalo gw’e Nakivubo , Nankulabye ne mulago.
Bosco Buziba ssentebe wa boda boda abakolera ku luguudo lwa By pass Namugongo agambye nti ababbi babagera banyuse ‘ekiro nebeddiza siteegi zabwe nebeefula aba boda boda nebabatwala mu bitundu ebyenjawulo eyo gyebatuuka nebbaba ebintu byabweAttachments area