SHANITA Nalika y’omu ku bawala abatambula n’omulembere. Yayogedde ne JOANITA NANGONZI n’amubuulira ebintu eby’enjawulo by’akola n’alabika bulungi.
Engoye zino abawala abacakaze be basinze okuzettanira era batera kuzambalira mu bifo ebisanyukirwamu.
Njagala nnyo engoye ez’obutimba kuba zimpa emirembe era zinnyumira.
Ekirala, bwe nzambala mpulira nga mba nnyumye nnyo okusinga abantu abalala era ne bwe ntambula mu kkubo mba nneenyumiriza mu nnyambala yange.
Engoye zino nzambalira ku ngatto ez’akakondo akawanvu bwemba nga ηηenda ku mikolo wabula mu biseera byange ebyeddembe, nnyambalirako engatto ennyimpi.
Sirina kifo kya nkalakkalira we nzigula, wabula wensanze olunnyumidde nga ndugula. Ebirala ebimukuumira ku mulembe mulimu; FFIGA Nfaayo nnyo okukuuma ffi ga yange obutagejja era nfuba okukola dduyiro mu wiiki omulundi gumu.
Ate n’omulimu gwe nkola oluusi gunneetaagisa okuzina, ekinnyamba okubeera ffiiti.
OLUSUSU
Luno ndulabira bulungi okusobola okulukuuma nga lunyirira era neewala okwesiiga buli kika kya bizigo. Nkozesa Fair&Lovely Lemon Lotion.
Ng’oggyeeko Lotion gye nkozesa, neewala okutambulira mu kasana okusobola okukuuma olususu lwange ate era nnywa nnyo amazzi.
Meekaapu mwesiiga ng’agenda ku siteegi ne ku mikolo era neewala okumusuza mu ffeesi yange okwewala okwonoona olususu lwange.
ENVIIRI
Njagala nnyo okusiba wiivu empanvu nga zirimu langi ez’enjawulo era ηηenda buli luvannyuma lwa wiiki bbiri mu saluuni ne nkyusa enviiri.
ENGATTO
Engatto nnyambala ez’akatondo akawanvu bwemba mu biteeteeyi ebyobutimba, wabula n’ennyimpi nzambala nga nsinziira ku musono gwennyambadde n’ekifo gye ηηenda. Nzigula 50,000/-.
ENJALA
Enjala zange nzifaako nnyo kubanga kye kimu ku byongera okulabisa omukyala obulungi era ebimufuula ow’omulembe.
Nfuba okulaba ng’enjala zirabika bulungi era nzikolako buli wiikendi, nga nsasula 20,000/-.
EBYOKWEWUNDA
Ebyokwewunda nabyo mbyambala okusobola okwongera okulabika obulungi era nnyambala nnyo ebikomo n’eby’omu bulago awamu n’essaawa.