23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Enkuba esannyalazza  emirimu gy’a batuuze b’e Kansanga mu munisipaali y’e Makindye .

Nnamutikkwa w’enkuba eyafudembye mu kiro ekyakeesezza ku Mmande yalese abatuuze b’e Kansanga mu munisipaali y’e Makindye  bagyekokkola.

Abamu ku batuuze abaatuukiriddwa bategeezezza nti okuva enkuba lwe yatandika okutonya ebayingirira mu mayumba gaabwe ebimu ku bintu byabwe ne byonoonebwa.

Agnes Nambalirwa, nga mutuuze mu ‘Wheeling Zooni’ enkuba gye yabagoyezza yagambye nti ebintu bya bukadde byayonooneddwa omuli; amayumba, entebe,firigi, ebitanda, emifaliso n’ebirala ebikozesebwa awaka.

Bano Enkuba Ebatigomezza ,Nambalirwa agamba obuzibu businze kuva ku mazzi agava mu mwala ng’ obungi bwago bwe buyitirira nga gakomawo mu mayumba gyebasula.

Agamba ebiyinza okugonjoola ku mbeera bweti kweyongera kukola emyala n’abantu okwewala okusaasanya kasasiro okugizibikira.

Luba Lwanga Charles, sipiika wa kkanso e Makindye agamba KCCA erina okwongera okukwasaganya eddimu ly’okukola emyala gibeere ng’ amazzi agayitiramu tegadda mu bantu gyebasula.

Yayongedde n’akkaatiriza nti ekibuga kirina okuddamu okulongoosebwa n’okwewala okuzimba mu ntobazzi.

Related posts

Buganda esse omukago ne kampuni ya NUCAFE.

OUR REPORTER

Abasuubuzi b’ennyaanya mu Kampala bakyevuma lutalo lw’e South Sudan

vega

MTN Uganda ezudde amaanyi agali mu bavubuka

OUR REPORTER

Leave a Comment