Abatuuze ku byalo 4 okuli Lubanja ,Ttaba,Kitemambazzi ne Nzunga mu Busimbi Division mu Mityana Municipality gebakaaba gebakomba, olw’enkuba esudde ebintu byabwe.
Enkuba eno ebadde ey’amaanyi ebaddemu Kibuyaga n’omuzira esudde amayumba n’ebirime.
Ssentebe w’ekyalo Kitemambazzi Matovu Moses agambye nti embeera gyebalimu kati yakusoberwa, abatuuze tebalina wakwebaka n’ekyokulya tebalina.