Enkuba eyatonnya e Mbarara, okumala olunaku lulamba erese eyonoonye amayumba n’agamu n’egasuula.
Abantu abaasinze okukosebwa bali: Kiyanja nga bano balumiriza abagagga abaazimba mu mifulejje egitambuza amazzi okuvaako obuzibu.

Aoamu ku batuuze eyabadde asaobeddwa, yagambye nti enkuba eyatandise okutonnya ng’esaaga yabafuukidde ekizibu, amazzi bwe gaayingidde mu mayumba gaabwe.
Yagambye nti ebintu byabwe byayonooneddwa amazzi.

Ekkubo eryabadd lyakakulebwa amazzi gaalyonoonye, abakolera mu kitundu kino ne basoberwa.
Baasabye abakulembeze okubadduukirira kubanga tebalina waakusula ate n’okuziyiza abazimba ku midumu egitambuza amazzi.