17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireEditor's PicksEssanyuFeaturedStarsVirtual Reality

ENNYONYI EGUDDE ABADDE AGIVUGA ASIMATTUSE

Bya Mudoma farouk – Mbale

Ennyonyi ya East African Aviation School ku ttendekero lya gavumenti eritendeka abavuga ennyonyi e Soroti erya Soroti Flying School eremeredde omugoba waayo abadde ayiga negwa mu kitoogo kye Nyakwa mu ggombolola ye Obutete mu district ye Pallisa, omugoba we nnyonyi eno ye Mercy Mulayi era nga muyizi kadeti yasobodde okusimattuka oluvannyuma lwo kutaasibwa abatuuze abaasobodde okumutaasa ne bamuddusa mu ddwaaliro e Pallisa okufuna obujjanjabi. Kigambibwa nti ono yabadde avuga nga awuliziganya na basomesa be ku ssomero era nga bamulagilira, naye yatuuse mu bwengula ennyonyi ne yekyanga kwe kugwa.

abatuze nga betegereza enyonyi eyagudde

Okurutu Moses omu ku bataasizza omugoba we nnyonyi yagambye nti baabadde ku nnyanja nga bavuba kwe kulaba ennyonyi nga egwa ne balowooza nti egenda kukka, naye bagenze okulaba nga egwa mu kitoogo wakati, wamu ne banne bana ne bakwaata obwaato nebanguwa okutuuka lwe beesozze ekitoogo munda wakati okutaasa obulamu bwo mugoba waayo.

Omwogezi wa poliisi mu Bukedi North Immaculate Alaso yagambye nti poliisi nga eri wamu na batuuze baasobodde okutaasa omugoba wa kanyonyi kano era yakakasizza nti yabadde muyizi okuva ku ttendekero lya bayiga okuvuga ennyonyi e Soroti, aduumira poliisi ye Pallisa ASP Umar Mugerwa yagambye nti mu kiseera kino poliisi ne minisitule ya works naba Soroti Flying School bagezaako okunonyereza kiki kyennyini ekyaviiriddeko ennyonyi eno okugwa, kirungi nti omugoba waayo wadde yabadde afunye obuvune naye ajja kutereera mu ddwaaliro gyaali okufuna obujjanjabi, era ekyo kugwa mu kitoogo yemu ku nsonga lwaaki omugoba yasimattuse, kubanga ssinga yagudde ku lukalu yandi fudde, ssi na kindi okukwaata omuliro. 

Related posts

Poliisi eggalidde omusumba agambibwa okutulugunya abaana.

OUR REPORTER

Abantu bakubye  Gavumenti mu Kkooti .

OUR REPORTER

Abatuuze baliko gwebataasizza ku babbi b’emmundu .

OUR REPORTER

Leave a Comment