Ensimbi obukadde 90 ezaalina okuweebwa SACCO ssatu (3) za bannamawulire zaawunzika ziweereddwa abakubi ba masimu ku laadiyo. Bino byonna biri mu disitulikiti ye Serere nga kyagenze okuzuulibwa nga kino kyava ku bugayaavu bwa bannamawulire, olwo abakubi ba masimu nga bayambibwako eyaliko omukozi ku laadiyo amanyiddwa nga John Moses Etiu era nga ye muwandiisi wa SACCO ze yatuuma eza bannamawulire. Etiu yakkirizza mu maaso ga babaka nga bweyakozesa olukujjukujju n’awandiisa abakubi b’amasimu.
Bino byazuuliddwa ababaka okuli Fred Opolot akiikirira Pingiri county ne Hellen Adoa Abeke omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Serere mu kaweefube w’okulondoola ssente z’emyoga.
Disitulikiti y’e Serere yaweebwa akawumbi 1 n’obukadde 800 nga ku zino obukadde 90 za kuweebwa mu SACCO za bannamawulire naye ne zigwa mu mikono emirala. Simon Peter Opolot nga ye ‘commercial officer’ we Serere obuzibu buno bwonna yabutadde ku Micro Finance Support center ng’agamba nti ssi bwa disitulikiti