22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Ensimbi za SACCO zitabudde  abe Nakawa.

ENSIMBI obukadde 50 n’ebyuma  ebyaweebwayo Pulezidenti Museveni  okuyamba abaweesi b’e Nakawa okwekulaakulanya bibatabudde ne beekalakaasa.

Abaweesi bano omuli;abakola Keesi z’abaana b’Amasomero n’ebintu ebirala nga beegattira mu SACCO eyitibwa Nakawa Metal Box Makers SACCO Ltd bekumyemu ogutaaka ne balumba wofaiisi za SACCO yaabwe  nga baagala abakulembeze baabwe babanyonnyole ensonga lwaki baasalawo okwezibika ensimbi obukadde 50 ezabaweebwa Pulezidenti Museveni okweggya mu bwavu.

Bano ababadde abatasalikako musale batadde omuwanika wa SACCO yaabwe Waswa Eria ku nninga abannyonyole ensonga lwaki tebabakkiriza kwewola ku Ssente zaabwe olw’obukwakkulizo obuyitirivu obubassibwako era nga balumirizza abakulembeze baabwe okwezibika ensimbi zaabwe.

Abaweesi bano basazeewo okuggalawo wofiisi za SACCO ko n’Ekyuma ekyabaweebwa Pulezidenti Museveni nga bagamba nti baagala abakulembeze ba SACCO eno bakwatibwe basoooke bannyonyole wa gyebaaka Ssente za SACCO.

Ssentebe wa SACCO Kato Peter agezezzaako okwegayirira abaweesi bamukkirize ayingire mu wofiisi aggyeyo ensawo ye alyoke abannyonyole kyokka ne beerema era Ensawo ya Ssentebe ajiyisizza mu kituli.

Wabula oluvannyuma abakulembeze ba SACCO eno nga bakulembeddwamu Ssentebe Kato Peter n’omuwanika we baliko byebanyonnyodde nga Ssentebe Kato ategeeza nti baawola bamemba ensimbi eziwerera ddala obukadde 48 ne bagaana okuzizza nga okuva olwo embeera ebadde ya kusika muguwa.

Related posts

Obunkenke bweyongedde ku bbula ly’amazzi e Masaka abazadde ne basattira

OUR REPORTER

Omugenzi AK47 afunye omusika.

OUR REPORTER

IGP  Okoth ategeezezza nti abasse omupoliisi e Luweero bagenderedde kutwala  mmundu basobole okuzeyambisa mu bubbi.

OUR REPORTER

Leave a Comment