Emboozi ya ssenga wiiki ewedde yacamudde nnyo abasajja ne basaba ne “anko” nga bagamba nti kituufu omukazi awemulira mu kitanda anyuma okukamala.
Nti ovanga ku muntu akugamba nti “yiiyo ngikuwadde lya” ng’ate ddala emmere agikuteeredde ku ssowaani.
Bagambye nti yooyo omukazi akworeza engoye ate n’akugamba nti ziizo yanika.
Kubanga laavu ey’ensonyi abantu bagikoowa bano ba “Gyako ettaala”.
Y’ensonga lwaki emikolo gy’omukwano nga muli mu kitanda gyetaagamu ebisoko ebitali bimu abagirimu okuginyumirwa.
Abaagalana bangi b’owulira ng’atenda omuntu we nti ‘gundi oyo muka’ ku nyuyi zonna olw’omusajja n’olwomukazi bw’omubuuza lwaki musuffu akugamba nti mu laavu muka.
Kwekugamba nti bw’agula emmere ate agattako ebinonoggo omuli n’okuwemula n’ofunira ddala apetayiti.
Wadde abasinga mulowooleza mu mazzi na luyimba lwa ggwanga nti byebisinga okuwoomesa ekiggwo ky’abakulu naye waliwo n’ebirala bingi wabula olw’obudde tugenda kwesiba ku bamu kye muyita okuwemula.
Naye ate era ndowooza kuno tekuba kuwemula kubanga obeera oyogedde ebigambo mu kifo ekituufu ate ku muntu omutuufu nga tewali abawulira.
Singa ovaamu ebigambo ebizito ng’otambula mu kkubo oba mu bantu omuli abaana abato oba abakkwasa ensonyi okwo kwe kuwemula.
Naye omuntu ali mu kitanda ne bba oba mukaziwe ne bwamugamba eggambo eddene aba tamuwemudde kubanga abeera ayogera kyalabako.
Kaakaati mu kazanyo kisobokera ddala okukozesa olulimi olwo ng’ogamba munno ekyo ekyamukula ne kiwola ate ng’okiyitira ddala linnya lyakyo.
Bwemubeera ku mmeeza nga mulya nga bwoyinza okugamba munno nti “nyongera ennyama eyo ennene gyendaba mu bbakuli” bw’osobola n’okukigamba munno mukazzanyo bwaba ddala agirina n’agikwongera.
Kwekugamba olw’okuba mubeera babiri osobola okummokkola kubanga era n’omupiira bwegutabaako baweereza guyinza obutanyuma.
Abayizzi bamanyi okuweerera embwa zaabwe bwe babeera mu kuyigga ne zeeyongera okutaamuuka n’okweswanta okugoba ensolo nga nabo bennyini bwe beesunga okugifumita.
Leeka laavu yammwe ebeeranga abayizzi mu nsiko ng’oyogera buli ky’oyagala nga ne munno bwatyo bw’akola.
Kozesa akakodyo kano nga bwoyongeramu n’ebisoko ebirala munno ajja kulwawo okwerabira mpozzi nga laavu yammwe yakwebbirira.