Wabaluseewo olutalo mu kibiina kya Natinal Unity Platform nga luli wakati w’abegwanyiza ekifo kya akulira abali ku ludda oluvuganya gavumenti mu palamenti (LoP), ekiviriddeko n’abamu kubabadde basinga oky’egwanyiza okuddukira mu ssabo okusobola okuloga omu ku gwe bavuganya naye, nga bagala okukimulemesa.

Okusooka ababaka bana (4) besowolayo nga begwanyiza ekifo kino era okuvuganya okwamanyi kwali wakati w’ababaka, omuli owa monicipaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke, omumyuuka wa Ssentebe wa NUP mu Buganda era nga ye mubaka akikirira Nyendo- Mukungwe mu palamenti Mathius Mpuuga, omubaka wa Busiro East Medard Lubega Ssegona ne Jonh Baptist Nambeshe akikirira manjiya county mu palamenti.
Nambooze bwe yali alangirira nga bwe yegwanyiza ekifo kino, yategeeza SSEKANOLYA nga yenna yeewana nti,’’ mulinde kulaba mmotoka z’obugombe nga ziva mukono okudda e kampala nga zitwala nze nga LoP’’, kyokka bwe yawulidde nti ate n’omubaka akikirira disitulikiti ye Kasanda mu palamenti Flavia Nabagabe Kalule naye yesowoddeyo ayagala kya LoP, ate nga mu NUP wanjawulo nnyo okubasingako, kwe kusalawo ate okukyuuka okwegwanyiza ekya Ssentebe wa kabondo ka Buganda mu palamenti, nga n’omubaka we Busujju David Kalwanga yalangirira dda nga bwakyegwanyiza.
Okusinziira kunsonda ezesigika okuva mu NUP zategezezza SSEKANOLYA nti, Mr. Principle (Bobi Wini) nga bbo bwe bamuyita, alina nnyo essuubi mu Nabagabe, kuba muwulize gyali, okusinga abalala bonna abegwanyiza ekifo kino. Bano bategezezza nti Bobi kiyinza okumukalubiriza okulonda abo abasinga okwegwanyiza ekifo ekyo kuba abasinga befuula nnyo, kale ng’atya nti singa alonda kwabo bayinza obutamulabawo ate n’okumuyiwa, kuba balabufu nnyo.
BIYINGIDDEMU EDDOGO
Ensonda era zatutegezezza nti,omu kubasinga okwegwanyiza ekifo kino okuva e Masaka, yaddukira mu ssabo n’asuula Nabagabe eddalu n’okuwunga n’awunga, kino kyasitula pulezidenti w’ekibiina n’agenda e Kasanda okumulaba, kyokka bwe wayita akabanga Nabagabe yaterera era n’okulayira yalayidde nga kati tulinada kula oba ddala Bobi gwagenda okulonda nga akulira abali kuludda oluvyganya gavumenti.