Police mu district ye Rukiga ekutte ab’oluganda 4, ku bigambibwa nti balina kyebamanyi kunfa ya mwannyinabwe, olw’enkaayana z’ettaka.
Abakwate ye Innocent Tumwekwase, Justus Mayumba, Samuel Atuhirwe,ne Christopher Bikorwomuhangi, bonna batuuze ku kyalo Rwenderema mugombola ye Ibumba Rwamucucu mu district ye Rukiga.
Atiddwa ye Christine Kiconco myaka 41 egyobukulu, kigambibwa nti abadde n’obutakanya ne bannyina nga buva ku nsonga z’e ttaka kitaabwe Selestino Byaruhanga lyeyabalekera .
Kigambibwa nti kitabwe yabawa ettaka kyoka Baganda be abalenzi ne batunda eryabwe ne liggwawo, olwo ne batandika okwagala okutunda erya Christine Kiconco n’agaana.

Omwogezi wa police etwala ekitundu kye Rukiga Elly Maate agambye nti sitatimenti zebafunye ziraga nti Kiconco okufa yasoose kugenda mu bbaala n’avaayo ng’atamidde n’atandika okulekaana nga bwalangira bannyina okwagala okutunda ettaka lyr kitaawe lyeyamuwa.
Kigambibwa nti yasigadde awoggana nga bw’abalangira okumala ekiseera, oluvannyuma yasirise wabula abazzeeko okumulaba basanze mulambo emabbali g’oluggya ewaka.
Police yayitiddwa nekwata bannyina bayambeko okunoonyereza, nga kigambibwa nti bandiba nga baamutuze.