14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Eyabba embuzi ya muliraanwa we akaligiddwa emyezi 2 mu kkomera.

OMUVUBUKA eyabba embuzi ya muliraanwa we gumusse mu vvi, gwe yagibbako amusonyiye naye kkooti ebigaanyi n’emukaliga yeebake e Luzira okumala emyezi ebiri aveemu omuze gw’obubbi.

Bashir Odoi 24, abeera Lusaze Lubya mu Lubaga y’asingisiddwa omusango guno mu kkooti ya Nateete – Lubaga e Mengo, omulamuzi Amon Mugezi n’amukaliga.

Oludda oluwaabi lwategeezezza nti nga March 28, 2023 e Lusaze, Odoi yayingira ekikomera kya Ronald Kigula n’abbamu kimeeme w’embuzi ebalirirwamu emitwalo 450,000. Kkamera z’ekikomera zaamukwata era oluvannyuma baamukwata nayo n’atwalibwa ku poliisi.

Kigula yategeezezza kkooti nti embuzi bwe baagitwala ku poliisi e Lusaze ng’ekizibiti, yagenda okutuukayo oluvannyuma yasanga ddiba lyokka ne bamutegeeza nti embuzi yalwala n’efa era ne bagibaaga. Agamba nti era ku mbuzi ye alinako ddiba.

Odoi asinzidde mu kaguli n’asaba okusonyiyibwa kubanga aboneredde era Kiguli n’amusonyiwa naye kkooti yo n’ekigaana n’asindikibwa mu kkomera e Luzira amaleyo emyezi ebiri nga bw’aggwamu obubbi.

Related posts

Gavumenti eddiza bamakanika ekitundu ku katale ka Kisekka.

OUR REPORTER

Trump agguddwako emisango gya nnaggomola 37.

OUR REPORTER

Oluguudo oluva e Buloba okudda e Nsangi lugaddwa.

OUR REPORTER

Leave a Comment