OMUTENDESI wa Spurs ow’ekiseera, Ryan Mason yatandise na maanyi emirimu gye ttiimu ye bwe yawangudde Southampton ggoolo 2-1 mu gwa Premier.
Obuwanguzi bwa Spurs buno bwajjidde mu kaseera nga beetegekera okwambalagana ne Man City ku Ssande ku fayinolo ya Carabao Cup.
Spurs yazze mu nsiike eno nga waliwo abaginyooma olw’okuba omutendesi agitendeka kati akyali muto kuba wa myaka 29 wabula omutindo gwe yalaze, gwasirisizza ababanyooma.
Gareth Bale ne Son Heung-min be baateebedde Spurs sso nga Danny Ings ye yasoose okuteebera Southampton.
Oluvannyuma lwa fayinolo, Spurs yaakuzzaako Sheffield United omupiira Mason nagwo gw’ayagala okuwangula.