17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Eyakuba omukazi alaajanidde mu kkooti.

Owekitiibwa omulamuzi olw’okuba ffena tuli Batoro omuntu tayinza  kukuba kubula  kutta! Ndi mu bulumi sisobola kuyimirira yadde okutama”. 

Ebyo bye byabadde ebigambo bya Faridah Kanyesige agambibwa okukubwa Edson Nyakojjo n’amutusaako obuvune ku mubiri. 

Nyakojjo 38, omutuuze we Kasubi mu Munisipaali y’e Lubaga yasindikiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya LDC e Makerere Martins Kirya n’asomerwa omusango gw’okukuba omuntu n’amutuusaako obuvune. 

Kigambbwa nti nga July 4 2023 e Makerere Kivvulu Nyakojjo yatuusa ku Kanyesige obuvune obwamaanyi ku mubiru.

Nyakojjo omusango yagwegaanyi n’ategeeza nti abaddenga akolagana ne Kanyesige era ku lunaku olwo baafunamu obutakkaanya era yalaba Kanyesige apangulukuse n’amuviira n’adda wabweru w’ebbaala nayo n’amulumbayo kwe kumusindika n’agwa wansi.

Nyakojjo yategeezeza kkooti nga bwe yandyagadde okujjanjaba Kanyesige era alina ente ye mu kyalo gy’ayagala okutunda nga yali ayogeddeko n’abeewaabwe kyokka okuva lwe yakwatibwa taddangamu kubawuliza n’agamba nti ente eri mu katale banoonya muguzi bwe banaagitunda asuubira okuwa Kanyesige emitwalo 25. 

Kanyesige yategeezeza nti Nyakojjo yamuwaako emitwalo 5 era n’ategeeza nti ayagala emitwalo 50 kuba ssente nnyingi ezaakagenda nga ate akyafuna obujjanjabi. 

Nyakojjo yasabye kkooti emuwe wiiki ssatu era omulamuzi Kirya n’amusindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga August 7, 2023 lw’anaddizibwa mu kkooti nga puliida we bw’ayogerezeganya n’abeewaabwe. 

Related posts

Abavubuka bekalakaasizza lwa mabaati ge Kalamoja – police ebakutte.

OUR REPORTER

Ebipya bizuuse ku muwala eyakecuddeko muganzi we obusajja.

OUR REPORTER

Eby’okuzza Byarugaba mu NSSF bikyali mu lusuubo.

OUR REPORTER

Leave a Comment