James Eyangu eyalabikira mukalango ka MTN asangidwa nga afiride mukisulo kye nga yakamala okutikirwa diguli.
James Eyangu eyalabikira mukalango ka MTN asangidwa nga afiride mukisulo kye nga yakamala okutikirwa degere.

Polisi mu Kampala etandise okunonyereza kunfa y’omuvubuka James Eyangu eyasangidwa mukisulo ky’abayizi nga afudde nga kya gye amalilize emisomo gye mu ttendekero lye Markerere University enaku ntononyo emabega.
James Eyangu (27), ng’ono yabadde akulira abayizi ababade basoma obusawo bwe ebisolo mu ssetendekero ono ku lwokusaatu lwa wiiki abade kya agye attikirwe digiri mu Biomedical Laboratory Technology wabula kumakya galero asangiddwa nga mufu.
“ okusinzira ku mulilwanawe ayitibwa Akol Carolyne agamba nti yasembye okulaba Eyangu kati omugenzi ku kumakya go’lwokuna lwa sabbiti eyise bwe yali alina ekintu kyamusaba okumuyambako,” bwatyo omwogezi wa police mu kampala n’emilirwano Luke Owoyesigire bwategezezza.
Ono agambye nti Akolo oluvanyuma yagenda ku somero okusoma kyoka mukuda ewaka yasanga kulugi lwe Eyagu kuliko kufulu ebweru. Yalowooza nti omugenzi yali atambudemu okutuuka ku sanday kumakya nga 23 /05/2021 bwe yatandika okuwulira ekisu ekibi nga kiva mu muzigo gwo omugenzi naye amangu ago kwekusalawo okutemya ku akulira Hostel Ssesanga Marvin eya temeza ku police.
Okusinzira ku Owoyesigyire, Police yasindise olugi lwe Eyangu nga omulambo gwe gugangalamye kubulili era omulambo gwe negutwalibwa mugwanika e Mulago okwongera okwekebejebwa
Eyangu abadde amanyiddwa nyo kumutimbagano era yalabikirako mukalongo ka MTN akamanyidwa nga Ssupu advert ekyamufula omwagalwa wa abangi nadala kumikutu gya sosolo midia.;