Omuvubuka abadde alabula omuntu obutamubba ababbi bamwefuulidde ne bamukuba eriiso ne ffeesi yonna n’awulubala nga bamulanga okuyingirira ebitamukwatako.

Bano okuli Tonny Arinyaba 19, ow’oku Kaleerwe zooni e Mulago ng’akola gwa kutunda cakacakala ne Peter Ssentamu 22, owe Kanyanya ng’akola bwakondakita ku luguudo lw’e Gayaza abasuubuzi babataayizza ne babakwasa poliisi y’oku Kaleerwe.
Abakwate kigambibwa bakkakkanye ku Sharif Kamugisha 29, omuvuzi wa Boda Boda ne bamukuba nga bamulanga okulabula omutunzi w’ebinyeebwa gwe babadde bagenda okusala ensawo.

Kamugisha yagambye nti yabadde asimbye piki piki ku Kaleerwe ng’anoonya basaabaze we yalabidde Arinyaba ne Ssentamu nga batambulira ku mutunzi w’ebinyeebwa bamubbeko essimu bwe yabagambye nti kye bakola kikyamu ne bamukkakkanako ne bamukuba eriiso, abakwate omusango baagukkirizza.