Omusajja agambibwa okusibira mukyala we mu nnyumba n’agikumako omuliro n’afiiramu, akwatiddwa poliisi.
Matia Luyima 27, omutuuze wa Nansana West 2 A zzooni e Wakiso , y’akwatiddwa poliisi ku bigambibwa nti aliko ky’amanyi ku kafa kwa mukyala we Patience Katushabe 31.

Kigambibwa nti Luyima yasibidde mukyala we mu nnyumba n’agenda okukola kumakya. Kitegeezeddwa nti Luyima bwe yakomyewo n’asanga ennyumba ng’ekutte omuliro n’akuba enduulu abadduukirize , kwe kusanga omulambo gwa Katushabe nga gujjiiridde ku kitanda.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, agambye nti mu nnyumba baasanzeemu sigiri okuli amanda nga kirowoozebwa kwe kwavudde omuliro.