OMUSAJJA eyakwatibwa ku misango gy’okutiisatiisa okutta munne n’amala n’atoloka ku poliisi bazzeemu okumukwata. Yeerize n’abasirikale omu n’amuluma olugalo.
John Nsubuga yeyakwatiddwa poliisi y,oku kaleerwe okuvannyum lwa James Mugisha owe Nansana Ganda ng’amulumiriza okumukuba saako n’okumuttisattisa okumutta .
Bano bombi bavuzi ba Boda Boda ku siteegi y’oku nkulungo y’oku Kaleerwe .
Mugisha yagambye nti entabwe yava ku Nsubuga kuteebereza nti ayogera n’omuvubuka amuvugirako piki piki n’ekigendererwa ky’okumulemesa okumukolera wano we yamukwatira n’amukuba n’amulekako embale.
Mugisha yaddukira ku poliisi n’aggulawo omusango ku fayiro nnamba SD REF: 37/26/8/2023 era abaserikale ne bakwata Nsubuga kyokka n’abalabiriza n’abadduko okutuusa lwe bazzeemu okumukwata nga kigambibwa abatte atambula n,omutayimbwa ng’agamba gw’agenda okuttisa Mugisha.
Nsubuga eyasoose okuvuma abasirikale oluvannyuma yakkirizza omusango n’asaba ekisonyiwo ng’agamba nti mwetegefu okujjanjabisa Mugisha ng’era talina kigendererwa kyakumutta naye kirabika yabyobera atamidde .