24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Eyatomera abayizi 8 emisango gimusinze.

Kooti e Ssembabule esingisizza omusajja Amiisi Musa emisango egy’okutomera abayizi 8, ku bano 5 baaffirawo abalala 3 baamenyeka amagulu n’emikono.

Abaana bano bonna nga bawala baali bava kuyigirizibwa mugigi mu kigo kya klezia ekya St.Gonzagagonza e Ssembabule, ng’ennaku zomwezi 16 July,2022 e Kabengo ku luguudo oluva e Ssembabule okudda e Gomba.

Hamiis Musa mu mmotoka yalimu n’abantu abalala babiri, yali kika kya Toyota Wish UBJ 517 L.

Amiisi yaggulwako emisango 10, nga 5 gyekwata kukutta, 3 kutuusa buvune ku bantu, 1 gwakuvugisa kimama n’ogwokuwa amawulire ag’obulimba eri police.

Abaana abaafa ye Winne Namata, Macklina Nabadda, Babirye Scovia, Nabayego Noelina, ne Joanita Nalubega.

Abaasigala n’ebisago eby’amaanyi nga nabuli kati bakyapooca kuliko Christine Ndagire, Agatha Bafugayaabo ne Molly Nanyonga.

Omulamuzi Obulu Moris Ezra ataddewo olwa nga 22 November,2022, lwagenda okusalira Amiisi Musa ekibonerezo.

Wabula bazadde babaana abaatomerwa, sibamativu n’engeri omusango guno gyegukwatiddwamu, nga bagamba nti mu mmotoka eyatomera abaana mwalimu abantu basatu, wabula omu yekka yavunaaniddwa.

Mu ngeri yeemu bagala government eyingire mu nsonga zino, abaana abacapooca n’ebisago bayambibweko ku bisale by’obujanjabi batwalibwe ne mu malwaliro agasingako.

Related posts

Mutubulire omuntu waffe ggwe mwawamba gyaali

OUR REPORTER

katikkiro Mayiga ayanjudde enteekateeka y’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka.

OUR REPORTER

Ambulance yagudde ku kabenje nga eddusa abakyala mudwaliro okuzaala.

OUR REPORTER

Leave a Comment