14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Eyatomera essomero lya Kasaka SS agguddwako emisango 4.

Omugoba wa loole kika kya Sino truck UBL 790J eyatomera essomero lya Kasaka SS mu Gomba, n’etta abayizi 4 n’abalalal abasoba mu 20 nebalumizibwa agguddwako emisango 4, akkirizaako gumu.

Ku misango egimugguddwako kuliko okuvuga ekidduka nga talina lukusa ( permit)  nga guno agukkizza era  bamusalidde ekibonerezo kyakusibwa omwaka gumu oba okutanga emitwalo nkaaga,   okuvugisa ekimama, okwononoona ebintu by’e ssomero, okutta abantu n’okubalumya

Omulamuzi w’eddaala erisooka atuula e Kanoni Poline Ssabakaak, y’asomedde Abudala Wannume emisango gino.

Wannume olumaze okumusomera emisango n’atwalibwa mu ddwaliro ly’e kkomera lye Luzira okufuna obujjanjabi.

Alagiddwa okukomezebwawo mu kkooti eno nga 30.5.2023 okumutegeeza okunonyereza ku misango gye wekutuuse.

Nga 14.3.2023  Wannume yali avuga loole ettikka omusennyu Sino truck yawaba neyingirira essomero lya Kasaka SS mu district ye Gomba, neyita mu bizimbe by’essomero 2, netta abayizi 4  n’abalala abasoba mu 20 yabaleka n’ebisago.

Related posts

Abantu 4 bafiiridde mu kabenje e Nakasongola.

OUR REPORTER

Omulabirizi Ssebaggala asabye abazadde okufaayo eri abaana.  

OUR REPORTER

30 Bbaffu, abasoba mu 20 bali bubi, Bus ya link egudde kuluguudo lw’e Fortportal – Kabalore

OUR REPORTER

Leave a Comment