Willy Mayambala eyavuganya ku bwa pulezidenti asinzidde ku kyalo e Kimegga ekisangibwa mu mukono disitulikiti nalungamya ku biragiro bya Covid, nagamba nti birina kuwebwa ba byabulamu sosi mukulembeze wa ggwanga kubanga abantu abamu tebamukililizaamu byayogera babiyita bya bufuzi y’ensonga lwaki ekirwade kyongede okutuga abantu.
Mayabala agambye nti ebiragiro pulezidenti Museveni byawa eri abantu okwetagira ekirwadde kya Covid abamu babisagiramu nga bagamba nti ali mu byabufuzi nagamba nti kino kiterezebwa ab’ekitongole kye by’obulamu bebabeera balangilira ekintu kyonna ekyongera ku bulwadde bwa Covid.
Ayongeddeko nti kituufu obulwadde mu gwanga mwebuli abantu balina okubwetangira baleme butafa naye ensonga zino zilija kusigala mu ba byabulamu kubanga bebazitegeera banna byabufuzi nga Museveni bazesonyiwe obulwadde bwa Covid si mmundu.
Alabudde nti embeera yakweyongera okubeera ey’obulabe singa abantu banagaana okugondera ebiragiro bya basawo ebikwatagana n’okutangira ekirwadde kya Corona .
