17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
FeaturedSENGA

Eyettanira okwambala mmini, wekkaanye bino

ABAWALA bangi abatambula n’omulembe bambala engoye ennyimpi oba mmini. Wabula waliwo ebintu by’olina okussaako essira ng’oyambadde mmini.

ABAWALA bangi abatambula n’omulembe bambala engoye ennyimpi oba mmini.
Solomone Kawuki omu ku bategeera eby’okwambala agamba nti buli muwala asobola okwambala engoye ennyimpi n’anyuma, ssinga afaayo okumanya byalina okuteekako omutima.

1Yambala engatto ezikutuuka. Kino kijja kukusobozesa okutambula obulungi era kijja kwongera okukulabisa ng’onyumye. Olugoye olumpi lunyumirako engatto y’akakondo akawanvu, naye bw’oba tosobola kukatambuza, tokeesibaako, oyinza okwambala ‘wedge’ oba pampu.

2 Bw’oba oyambadde mmini ng’ogenda mu kifo eky’obuvunaanyizibwa, yambaliramu sitookisi ezitangaala (body stockings). Kino kiyambako obuteesittaza abakulaba naddala abatayagala musono guno.
Ekirala, sitookisi zino era ziyamba ssinga obeera n’enkovu ku magulu ne zitalabika.

3 Teweerabira okwambaliramu ‘biker’. Eno erina okuba eya ppamba ng’ekukwata bulungi omubiri. Kino kijja kukuyamba obutakunama ssinga weesanga ng’olina okukutama, oba ng’otudde olugoye ne lwesika.

4 Kirungi otambuleko n’akakooti oba akasweta mu nsawo. Kano kajja kukutaasa bwe weesanga ng’oli mu kifo we bayinza obutakkiriza kwambalirayo bimpi. Akasweta kiba kirungi ne kaba kawanvu ko.

5 Bw’oyambala ebimpi, olususu lwo lusiige woyiro naddala amagulu, gabeere nga ganyirira. Kirabika bulala okwambala mmini kyokka ng’amagulu gasiiwuuse. Tambula n’akazigo mu nsawo, bw’olaba osiiwuuse nga wezzaako.

6 Weemanyiize okutambula n’essimbo. Bw’oyambala mmini ate n’otambula ng’osaatuuka, bajja kukuggya emize.

7 Beera mumativu n’omubiri gwo. Bw’oba toli mumativu oba tewekkiririzaamu na kikula kya mubiri gwo tosobola kwambala bimpi n’onyuma kuba ojja kutambula nga teweekakasa. Bw’oba oli munene osobola okwambala ggata n’olabika bulungi.

8 Teweetonaatona nnyo. Bw’oba oyambadde ebimpi fuba omubiri gwo oleme kugufuula ‘bbize’ nnyo.
Weewale okwewunda ennyo, teekako ebisaanidde nga obw’oku matu obutonotono, n’omukuufu gw’omu bulago.

Related posts

Aba St. Stephen e Kasangati bakungubagidde mukyala w’eyaliko omukubiriza waabwe.

OUR REPORTER

Minisita Mayanja alabudde Bobi Wine.

OUR REPORTER

Kyagulanyi  agamba eby’okukuza Muhoozi bamusembereza ntebe ya bwapulezidenti.

OUR REPORTER

Leave a Comment